×

Luganda Bible

Zabbuli 67

1
Katonda atusaasirenga, atuwenga omukisa. Atwakizenga amaaso ge; (Seera)
2
Ekkubo lyo limanyibwenga mu nsi, Obulamu bwo obulokola bumanyibwenga mu mawanga gonna.
3
Abantu bakutenderezenga, ai Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga.
4
Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw'essanyu: Kubanga olisalira abantu emisango egy'ensonga, Era olifugira amawanga mu nsi. (Seera)
5
Abantu bakutenderezenga, ai Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga,
6
Ensi ereese ekyengera kyayo: Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
7
Katonda anaatuwanga omukisa; N'enkomerero zonna ez'ensi zinaamutyanga.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes