×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 67

1
Ayi Katonda, tukwatirwe ekisa, otuwenga omukisa, otutunuulize amaaso ag'ekisa,
2
ensi yonna eryoke emanye by'oyagala, amawanga gonna gamanye bw'olokola.
3
Abantu bakutenderezenga, ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.
4
Amawanga gasanyukenga, gayimbenga olw'essanyu kubanga osalira abantu emisango mu bwenkanya, era ofuga amawanga gonna mu nsi.
5
Abantu bakutenderezenga, ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga.
6
Ensi ebazizza ebibala bingi, Katonda, Katonda waffe atuwadde omukisa.
7
Katonda atuwadde omukisa, abantu mu nsi zonna bamussengamu ekitiibwa.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes