BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Eri omuyimbisa. Na bivuga bya nkoba. Zabbuli. Luyimba. |
| 2 |
| Katonda atusaasire, atuwe omukisa, atwakize amaaso ge. |
| 3 |
| Amakubo go gamanyibwe mu nsi, n'obulokozi bwo mu mawanga wonna. |
| 4 |
| Amawanga gakugulumize, ayi Katonda; amawanga gonna gakugulumize. |
| 5 |
| Amawanga gajaganye era gayimbe n'essanyu, kubanga olamula abantu mu bwenkanya, n'amawanga mu nsi n'ogalambika. |
| 6 |
| Amawanga gakugulumize, ayi Katonda; amawanga gonna gakugulumize. |
| 7 |
| Ettaka lireese ebibala byalyo; Katonda atuwe omukisa, Katonda waffe. |
| 8 |
| Katonda atuwe omukisa; enkingi z'ensi zonna zimutye. |
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/psalms/067.mp3
150
67