Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ayi Katonda tukwatirwe ekisa, otuwe omukisa, era otwakize amaaso go. |
| 2 |
| Ekkubo lyo limanyibwe mu nsi, n’obulokozi bwo mu mawanga gonna. |
| 3 |
| Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga. |
| 4 |
| Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu. Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya, n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi. |
| 5 |
| Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda, abantu bonna bakutenderezenga. |
| 6 |
| Ensi erireeta amakungula gaayo; era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa. |
| 7 |
| Katonda anaatuwanga omukisa; n’enkomerero z’ensi zinaamutyanga. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/067.mp3
150
67