EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Katonda atusaasirenga, atuwenga omukisa, Atwakizenga amaaso ge; |
| 2 |
| Ekkubo lyo limanyibwenga mu nsi, Obulamu bwo obulokola bumanyibwenga mu mawanga gonna. |
| 3 |
| Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga. |
| 4 |
| Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw'essanyu, Kubanga osalira abantu emisango n'obwenkanya, Era oluŋŋamya amawanga gonna mu nsi. |
| 5 |
| Abantu bakutenderezenga, Ayi Katonda; Abantu bonna bakutenderezenga! |
| 6 |
| Ensi ereese ekyengera kyayo; Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa. |
| 7 |
| Katonda anaatuwanga omukisa; N'enkomerero zonna ez'ensi zinaamutyanga! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/psalms/067.mp3
150
67