|
| 1 |
|
| Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane; Era n'abo abamukyawa badduke mu maaso ge. |
|
| 2 |
|
| Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo: Ng'envumbo bw'esaanuuka ku muliro, Ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda. |
|
| 3 |
|
| Naye abatuukirivu basanyuke; bajagulize mu maaso ga Katonda: Weewaawo, bajaguze n'essanyu. |
|
| 4 |
|
| Mumuyimbire Katonda, muyimbe okutendereza erinnya lye: Mumukubire oluguudo oyo eyeebagalira mu malungu; YA lye linnya lye; era mujagulize mu maaso ge. |
|
| 5 |
|
| Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe, era asalira bannamwandu omusango, Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu. |
|
| 6 |
|
| Katonda awa abawuulu ennyumba: Aggya abasibe (mu kkomera) okulaba ebirungi: Naye abajeemu batuula mu nsi ekaze. |
|
| 7 |
|
| Ai Katonda, bwe wakulembera abantu bo, Bwe watambula mu ddungu; (Seera) |
|
| 8 |
|
| Ensi n'ekankana, Eggulu ne ligwa mu maaso ga Katonda: Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri. |
|
| 9 |
|
| Ggwe, ai Katonda, watonnyesa enkuba nnyingi, N'onyweza obusika bwo, bwe bwali nga bukooye. |
|
| 10 |
|
| Ekibiina kyo kyatuula omwo: Ggwe, ai Katonda; wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo. |
|
| 11 |
|
| Mukama yawa ekigambo: Abakazi ababuulira ebigambo lye ggye eringi. |
|
| 12 |
|
| Bakabaka b'eggye badduka, badduka: Omukazi asigala eka ye agaba omunyago. |
|
| 13 |
|
| Muligalamira mu bisibo by'endiga, Ng'ebiwaawaatiro by'ejjiba ebibikkibwako effeeza, N'ebyoya byalyo ebiriko ezaabu emmyufu? |
|
| 14 |
|
| Omuyinza w'ebintu byonna bwe yasaasaanyiza omwo bakabaka, Kyali nga omuzira bwe gutonnya mu Zalumoni. |
|
| 15 |
|
| Olusozi Basani lwe lusozi lwa Katonda; Olusozi Basani lwe lusozi oluwanvu. |
|
| 16 |
|
| Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu, Olusozi Katonda lwe yayagala okulutuulako? Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna. |
|
| 17 |
|
| Amagaali ga Mukama bwe bukumi obubiri, ze nkumi n’enkumi: Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu. |
|
| 18 |
|
| Olinnye waggulu, osibye obusibe bwo; Oweereddwa ebirabo mu bantu, Era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo. |
|
| 19 |
|
| Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. (Seera) |
|
| 20 |
|
| Katonda ye Katonda ow'okuwonyanga gye tuli; Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa. |
|
| 21 |
|
| Naye Katonda alifumita omutwe gw'abalabe be, N'obwezinge obuliko enviiri obwa buli muntu anyiikira okuzza omusango. |
|
| 22 |
|
| Mukama yayogera nti Ndikomyawo okuva mu Basani, Ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja: |
|
| 23 |
|
| Olyoke onnyike ekigere kyo mu musaayi, Olulimi lw'embwa zo lubeerenga n'omugabo gwalwo eri abalabe bo. |
|
| 24 |
|
| Balabye bw'otambula, ai Katonda, Ggwe Katonda wange, Kabaka wange, bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu. |
|
| 25 |
|
| Abayimbi bakulembedde, abakubi b'ennanga bagoberedde, Wakati mu bawala abakuba ebitaasa. |
|
| 26 |
|
| Mwebalize Katonda mu bibiina, Ye Mukama, mmwe ab'oluzzi lwa Isiraeri. |
|
| 27 |
|
| Waliwo Benyamini omuto abafuga, Waliwo abalangira ba Yuda n'abateesa nabo, Waliwo abalangira ba Zebbulooni, abalangira ba Nafutaali. |
|
| 28 |
|
| Katonda wo alagidde amaanyi go: Onywezenga, ai Katonda, kye watukolera. |
|
| 29 |
|
| Olwa yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi, Bakabaka kyebanaavanga bakuleetera ebirabo. |
|
| 30 |
|
| Onenye ensolo ey'omu bitoogo, Ente ennyingi eza seddume, n'ennyana ez'amawanga, Ng'olinnyirira ebitundu eby'effeeza n'ebigere byo; Asaasaanyizza amawanga agasanyukira entalo. |
|
| 31 |
|
| Abalangira baliva mu Misiri; Kuusi eryanguwa okugolola emikono gye eri Katonda. |
|
| 32 |
|
| Muyimbire Katonda, mmwe amatwale g'ensi; Kale muyimbe okutendereza Mukama; (Seera) |
|
| 33 |
|
| Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu, eryabaawo edda n'edda lyonna; Laba, ayogera n'eddoboozi lye, lye ddoboozi ery'amaanyi. |
|
| 34 |
|
| Mumuwe Katonda amaanyi: Obulungi bwe bufuga Isiraeri, N'amaanyi ge gali mu ggulu. |
|
| 35 |
|
| Ai Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu: Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be. Katonda yeebazibwe. |
|
|
|
|