|
| 1 |
|
| Katonda k'asituke, abalabe be basaasaane. |
|
| 2 |
|
| Abafuumuule ng'omukka bwe gufuumuuka. Ng'envumbo bw'esaanuuka awali omuliro, n'ababi bwe baba bazikirira awali Katonda. |
|
| 3 |
|
| Naye abo abakola Katonda by'ayagala, basanyuke bajaganye mu maaso ge, bajaguze olw'essanyu. |
|
| 4 |
|
| Muyimbire Katonda mumutendereze. Mumulongooseze ekkubo, atambulira mu bire. Mukama lye linnya lye, mujagulize mu maaso ge. |
|
| 5 |
|
| Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu, ye alabirira abatalina kitaabwe, era ye akuuma bannamwandu. |
|
| 6 |
|
| Abatalina abayamba Katonda abawa ennyumba mwe basula. Aggya abasibe mu kkomera, n'abatuusa ku ddembe. Naye abajeemu babeera mu nsi enkalu. |
|
| 7 |
|
| Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo, bwe watambula mu ddungu, |
|
| 8 |
|
| ensi yakankana, enkuba yafukumuka, Olusozi Sinaayi lwakankana olw'okujja kwa Katonda wa Yisirayeli. |
|
| 9 |
|
| Watonnyesa enkuba nnyingi, ayi Katonda, n'onnyikiza ensi yo eyali erakasidde, |
|
| 10 |
|
| abantu bo ne basenga omwo. Olw'ekisa kyo, abaavu wabawa bye beetaaga. |
|
| 11 |
|
| Mukama yawa ekiragiro, bangi ne batwala amawulire nti: |
|
| 12 |
|
| “Bakabaka b'amagye badduka.” Abakazi abasigala awaka be bagabana omunyago. |
|
| 13 |
|
| Mmwe musigala mugalamidde mu bisibo by'endiga, ng'ejjiba ery'ebiwaawaatiro ebibikkiddwako ffeeza, n'ebyoya ebiriko zaabu atemagana. |
|
| 14 |
|
| Katonda Omuyinzawaabyonna bwe yasaasaanya bakabaka ku Lusozi Salumooni, omuzira gwagwako. |
|
| 15 |
|
| Basani nga lusozi lunene: Basani lulina emitwe emigulumivu! |
|
| 16 |
|
| Ggwe olusozi olw'emitwe emigulumivu, lwaki oziimuula olusozi Katonda lwe yayagala okubeerako? Ddala alirubeerako ennaku zonna. |
|
| 17 |
|
| Mukama ava ku Sinaayi n'amagaali ge obukumi n'obukumi, n'ayingira mu kifo ekitukuvu. |
|
| 18 |
|
| Alinnya ku lusozi oluwanvu ng'atwala abasibe bangi. Afunye ebirabo bingi mu bantu, ne mu abo abajeemu. Mukama anaabeeranga eyo. |
|
| 19 |
|
| Mukama atuwanirira buli lunaku, atenderezebwe. Ye Katonda atulokola. |
|
| 20 |
|
| Katonda waffe ye Katonda alokola, era Katonda ye Mukama atuwonya okufa. |
|
| 21 |
|
| Ddala Katonda alyasa emitwe gy'abalabe be, egy'abanyiikira okuzza emisango. |
|
| 22 |
|
| Mukama yagamba nti: “Ndikomyawo abalabe bo okuva e Basani, ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja, |
|
| 23 |
|
| olyoke olinnye mu musaayi gwabwe, n'embwa zo zigukombenga nga bwe zaagala.” |
|
| 24 |
|
| Ayi Katonda, bonna balabye bw'otambula, bw'otambula ggwe Katonda wange, Kabaka wange, ng'oyingira mu kifo kyo ekitukuvu. |
|
| 25 |
|
| Abayimbi be bakulembedde, ab'ebivuga ne baddirira. Wakati we wali abawala abagenda bakuba ensaasi. |
|
| 26 |
|
| Mwebalize Katonda mu lukuŋŋaana olunene, mutendereze Mukama mmwe abasibuka mu Yisirayeli. |
|
| 27 |
|
| Benyamiini asembayo obuto abakulembere, kuddeko abalangira ba Yuda. Bagobererwe abakungu ba Zebbulooni n'aba Nafutaali. |
|
| 28 |
|
| Laga obuyinza bwo, ayi Katonda, n'amaanyi ge wakozesa okugasa ffe. |
|
| 29 |
|
| Olw'Essinzizo lyo eriri mu Yerusaalemu, bakabona banaakuleeteranga ebirabo. |
|
| 30 |
|
| Boggolera ensolo ezo ez'omu kisaalu, boggolera amawanga, ente ezo ennume, n'ennyana zaakwo, okutuusa zonna lwe zirivuunama ne zikutonera ffeeza. Saasaanya abantu abaagala entalo. |
|
| 31 |
|
| Ababaka baliva e Misiri, n'ab'e Etiyopiya baligolola emikono eri Katonda nga bamusinza. |
|
| 32 |
|
| Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka bw'ensi. |
|
| 33 |
|
| Muyimbire eyeebagala ku ggulu eryabaawo edda n'edda lyonna. Muwulire bw'ayogera n'eddoboozi lye ery'amaanyi. |
|
| 34 |
|
| Mumukkirize nti wa buyinza, ekitiibwa kye kifuga Yisirayeli n'obuyinza bwe buli mu ggulu. |
|
| 35 |
|
| Katonda nga wa ntiisa mu kifo kye ekitukuvu, Katonda oyo owa Yisirayeli! Awa abantu be obuyinza n'amaanyi. Katonda atenderezebwe |
|
|
|
|