|
| 1 |
|
| Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane, n’abo abamukyawa bamudduke. |
|
| 2 |
|
| Ng’empewo bw’efuumuula omukka, naawe bafuumuule bw’otyo; envumbo nga bw’esaanuuka mu muliro, n’abakola ebibi bazikirire bwe batyo mu maaso ga Katonda! |
|
| 3 |
|
| Naye abatuukirivu basanyuke bajagulize mu maaso ga Katonda, nga bajjudde essanyu. |
|
| 4 |
|
| Muyimbire Katonda, muyimbe nga mutendereza erinnya lye; mumuyimusize amaloboozi gammwe oyo atambulira mu bire. Erinnya lye ye Mukama, mujagulize mu maaso ge. |
|
| 5 |
|
| Ye Kitaawe w’abataliiko bakitaabwe, ye mukuumi wa bannamwandu; ye Katonda abeera mu kifo kye ekitukuvu. |
|
| 6 |
|
| Katonda afunira abatalina we babeera ekifo eky’okubeeramu, aggya abasibe mu kkomera n’abagaggawaza; naye abajeemu babeera mu bifo bikalu ddala. |
|
| 7 |
|
| Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo, n’obayisa mu ddungu, |
|
| 8 |
|
| ensi yakankana, eggulu ne lifukumula enkuba mu maaso ga Katonda; n’olusozi Sinaayi ne lukankana awali Katonda, Katonda wa Isirayiri! |
|
| 9 |
|
| Watonnyesa enkuba nnyingi ku nsi, Ayi Katonda; ensi y’obusika bwo n’ogizzaamu obugimu bwe bwali nga buggweerera; |
|
| 10 |
|
| abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda, abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo. |
|
| 11 |
|
| Mukama yalangirira; ne babunyisa ekigambo kye; baali bangi ne boogera nti: |
|
| 12 |
|
| “Bakabaka badduse n’amaggye gaabwe; abantu ne bagabana omunyago. |
|
| 13 |
|
| Balabe bwe banyirira n’obugagga bwa ffeeza ne zaabu! Babikkiddwa ng’ejjuba bwe libikkibwa ebiwaawaatiro byalyo.” |
|
| 14 |
|
| Ayinzabyonna yasaasaanya bakabaka, ne baba ng’omuzira bwe gugwa ku Zalumoni. |
|
| 15 |
|
| Ggwe olusozi olw’ekitiibwa, olusozi lwa Basani; ggwe olusozi olw’emitwe emingi, olusozi lwa Basani! |
|
| 16 |
|
| Lwaki otunuza obuggya ggwe olusozi olw’emitwe emingi? Lwaki okwatirwa obuggya olusozi Katonda lwe yalonda okufugirako? Ddala okwo Mukama kw’anaabeeranga ennaku zonna. |
|
| 17 |
|
| Mukama ava ku lusozi Sinaayi nga yeetooloddwa amagaali enkumi n’enkumi n’ajja mu kifo kye ekitukuvu. |
|
| 18 |
|
| Bwe walinnyalinnya olusozi, ng’abanyage bakugoberera; abantu ne bakuwa ebirabo nga ne bakyewaggula mwebali; bw’atyo Mukama Katonda n’abeeranga wamu nabo. |
|
| 19 |
|
| Atenderezebwe Mukama, Katonda omulokozi waffe, eyeetikka emigugu gyaffe egya buli lunaku. |
|
| 20 |
|
| Katonda waffe ye Katonda alokola; era tuddukira eri Mukama Katonda okuwona okufa. |
|
| 21 |
|
| Ddala, Katonda alibetenta emitwe gy’abalabe be, kubanga ne mu bukadde bwabwe balemera mu bibi byabwe. |
|
| 22 |
|
| Mukama agamba nti, “Ndibakomyawo nga mbaggya mu Basani, ndibazza nga mbaggya mu buziba bw’ennyanja, |
|
| 23 |
|
| mulyoke munaabe ebigere byammwe mu musaayi gw’abalabe bammwe, n’embwa zammwe zeefunire ebyokulya.” |
|
| 24 |
|
| Ekibiina kyo ky’okulembedde bakirabye, Ayi Katonda, balabye abali ne Katonda wange, era Kabaka wange, ng’otambula okugenda mu watukuvu; |
|
| 25 |
|
| abayimbi nga bakulembedde, ab’ebivuga nga bavaako emabega ne wakati waabwe nga waliwo abawala abakuba ebitaasa. |
|
| 26 |
|
| Mutendereze Katonda mu kibiina ekinene; mumutendereze Mukama, mmwe abakuŋŋaanye abangi Abayisirayiri. |
|
| 27 |
|
| Waliwo ekika kya Benyamini asinga obuto kye kikulembedde, ne kuddako ekibinja ekinene eky’abalangira ba Yuda, n’abalangira ba Zebbulooni n’abalangira ba Nafutaali. |
|
| 28 |
|
| Laga obuyinza bwo, Ayi Katonda, otulage amaanyi go, Ayi Katonda onyweze ebyo by’otukoledde. |
|
| 29 |
|
| Bakabaka balikuleetera ebirabo olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi. |
|
| 30 |
|
| Nenya ensolo enkambwe ey’omu bisaalu, eggana lya ziseddume eriri mu nnyana z’amawanga. Gikkakkanye ereete omusolo ogwa ffeeza. Osaasaanye amawanga agasanyukira entalo. |
|
| 31 |
|
| Ababaka baliva e Misiri, ne Kuusi aligondera Katonda. |
|
| 32 |
|
| Muyimbire Katonda mmwe obwakabaka obw’ensi zonna. Mutendereze Mukama. |
|
| 33 |
|
| Oyo eyeebagala eggulu erya waggulu ery’edda, eddoboozi lye ery’amaanyi liwuluguma okuva mu ggulu. |
|
| 34 |
|
| Mulangirire obuyinza bwa Katonda, ekitiibwa kye kibuutikidde Isirayiri; obuyinza bwe buli mu bire. |
|
| 35 |
|
| Oli wa ntiisa, Ayi Katonda, mu kifo kyo ekitukuvu. Katonda wa Isirayiri, yawa abantu obuyinza n’amaanyi. Katonda atenderezebwe. |
|
|
|
|