|
| 1 |
|
| Katonda agolokoke, abalabe be basaasaane; Era n'abo abamukyawa badduke mu maaso ge! |
|
| 2 |
|
| Ng'omukka bwe gugobebwa, obagobe bw'otyo; Ng'envumbo bw'esaanuuka awali omuliro, N'ababi bazikirire bwe batyo awali Katonda! |
|
| 3 |
|
| Naye abatuukirivu basanyuke; bajagulize mu maaso ga Katonda; Weewaawo, bajaguze n'essanyu! |
|
| 4 |
|
| Mumuyimbire Katonda, muyimbe okutendereza erinnya lye; Mumukubire oluguudo oyo eyeebagalira mu malungu; Ya lye linnya lye; era mujagulize mu maaso ge. |
|
| 5 |
|
| Kitaabwe w'abo abatalina bakitaabwe, era omukuumi wa bannamwandu, Oyo ye Katonda mu kifo kye ekitukuvu ky'atuulamu. |
|
| 6 |
|
| Katonda awa abawuulu ennyumba; Aggya abasibe mu kkomera ne balaba ebirungi; Naye abajeemu batuula mu nsi ekaze. |
|
| 7 |
|
| Ayi Katonda, bwe wakulembera abantu bo, Bwe watambula nabo mu ddungu; |
|
| 8 |
|
| Ensi n'ekankana, Enkuba nefukumuka okuva mu ggulu mu maaso ga Katonda: Olusozi luli Sinaayi ne lukankanira mu maaso ga Katonda, Katonda wa Isiraeri. |
|
| 9 |
|
| Ggwe, Ayi Katonda, watonnyesa enkuba nnyingi, N'onyweza obusika bwo, bwe bwali nga bukooye. |
|
| 10 |
|
| Ekibiina kyo kyatuula omwo; Ggwe, Ayi Katonda, wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo. |
|
| 11 |
|
| Mukama yawa ekiragiro; Eggye eddene ery'abakazi ne batwala amawulire. |
|
| 12 |
|
| Bakabaka b'eggye badduka, badduka! Abakazi abasigala eka be bagaba omunyago. |
|
| 13 |
|
| Muligalamira mu bisibo by'endiga, Ng'ebiwaawaatiro by'ejjiba ebibikkibwako effeeza, N'ebyoya byalyo ebiriko ezaabu emmyufu. |
|
| 14 |
|
| Omuyinza w'ebintu byonna bwe yasaasaanyiza omwo bakabaka, Kyali nga omuzira bwe gutonnya mu Zalumoni. |
|
| 15 |
|
| Olusozi Basani lwe lusozi lwa Katonda; Olusozi Basani lwe lusozi oluwanvu! |
|
| 16 |
|
| Kiki ekibaluziimuuza, mmwe ensozi empanvu, Olusozi Katonda lwe yayagala okutuulako? Weewaawo, Mukama anaalutuulangako emirembe gyonna. |
|
| 17 |
|
| Amagaali ga Mukama gy'emitwalo ebiri (20,000), ze nkumi n'enkumi; Mukama ali mu ago, nga ku Sinaayi, mu watukuvu. |
|
| 18 |
|
| Olinnye waggulu, n'otwala abasibe bangi; Oweereddwa ebirabo mu bantu, Era ne mu bajeemu, Mukama Katonda alyoke atuulenga wamu nabo. |
|
| 19 |
|
| Mukama atenderezebwenga atusitulira omugugu gwaffe buli lunaku, Ye Katonda, bwe bulokozi bwaffe. |
|
| 20 |
|
| Katonda ye Katonda atulokola; Era Yakuwa Mukama ye nannyini kuwonya mu kufa. |
|
| 21 |
|
| Naye Katonda alyasa emitwe gy'abalabe be, N'obwezinge obuliko enviiri obwa buli muntu anyiikira okuzza omusango. |
|
| 22 |
|
| Mukama yayogera nti Ndibakomyawo okuva mu Basani, Ndibakomyawo okuva mu buziba bw'ennyanja, |
|
| 23 |
|
| Olyoke onnyike ekigere kyo mu musaayi, Olulimi lw'embwa zo lunagukombanga nga bwe zaagala. |
|
| 24 |
|
| Balabye bw'otambula, Ayi Katonda, Ggwe Katonda wange, Kabaka wange, bw'otambula ng'oyingira mu watukuvu. |
|
| 25 |
|
| Abayimbi bakulembedde, abakubi b'ennanga bagoberedde, Wakati mu bawala abakuba ebitaasa. |
|
| 26 |
|
| Mwebalize Katonda mu bibiina, Ye Mukama, mmwe abasibuka mu Isiraeri. |
|
| 27 |
|
| Waliwo Benyamini omuto abafuga, kuddeko abalangira ba Yuda ne be baateesa nabo, bagobererwe abalangira ba Zebbulooni, n'abalangira ba Nafutaali. |
|
| 28 |
|
| Katonda wo alazze amaanyi ge; Onywezenga, Ayi Katonda, kye watukolera. |
|
| 29 |
|
| Olwa Yeekaalu yo eri mu Yerusaalemi, Bakabaka kyebanaavanga bakuleetera ebirabo. |
|
| 30 |
|
| Boggolera ensolo ezo ez'omu bitoogo, Ente ennyingi eza sseddume, n'ennyana ez'amawanga, Linyirira wansi w'ebigere byo abo abayayanira ebirabo; saasaanya abantu bonna abasanyukira entalo. |
|
| 31 |
|
| Ebikomo bireeteebwe okuva e Misiri; Kuusi eyanguwe okugolola emikono gyayo eri Katonda. |
|
| 32 |
|
| Muyimbire Katonda, mmwe amatwale g'ensi; Kale muyimbe okutendereza Mukama; |
|
| 33 |
|
| Oyo eyeebagala ku ggulu eriri waggulu w'eggulu, eryabaawo edda n'edda lyonna; Laba, ayogera n'eddoboozi lye, lye ddoboozi ery'amaanyi. |
|
| 34 |
|
| Mumuwe Katonda ekitiibwa n'amaanyi, Obulungi bwe bufuga Isiraeri, N'amaanyi ge gali mu ggulu. |
|
| 35 |
|
| Ayi Katonda, oli wa ntiisa ng'oyima mu bifo byo ebitukuvu, Katonda wa Isiraeri yawa amaanyi n'obuyinza abantu be. Katonda yeebazibwe! |
|
|
|
|