|
| 1 |
|
| Ndokola, Ayi Katonda! Kubanga amazzi gantuuse mu bulago. |
|
| 2 |
|
| Ntubira mu bitosi ebiwanvu awatali kuyimirira; Ntuuse mu buziba bw'amazzi, omujjuzo gw'amazzi gunkulukuttirako. |
|
| 3 |
|
| Okukaaba kwange kunkooyesezza; obulago bwange bukaze, Amaaso gange gayimbadde nga, nnindirira Katonda wange. |
|
| 4 |
|
| Abankyayira obwereere basinga enviiri ez'oku mutwe gwange obungi; Ba maanyi abaagala okunzikiriza, abo abannumba nga bawayiriza. Ebyo bye ssabba kaakano bye nsaana okuzzawo? |
|
| 5 |
|
| Ayi Katonda, ggwe omanyi obusirusiru bwange; N'okwonoona kwange tekukisibwa woli. |
|
| 6 |
|
| Abakulindirira ggwe balemenga okukwatibwa ensonyi ku lwange, Ayi Mukama Katonda ow'eggye; Abakunoonya ggwe balemenga okuswazibwa ku lwange, Ayi Katonda wa Isiraeri. |
|
| 7 |
|
| Kubanga banvuma okunnanga ggwe; Ensonyi zibisse amaaso gange. |
|
| 8 |
|
| Nfuuse munnaggwanga eri baganda bange, Era n'eri abaana ba mmange. |
|
| 9 |
|
| Kubanga obuggya obw'ennyumba yo bundidde; N'ebivume by'abo abakuvuma ggwe bizze ku nze. |
|
| 10 |
|
| Bwe nnakaaba amaziga, emmeeme yange n'esiiba enjala, Ekyo kye kyanvumya. |
|
| 11 |
|
| Bwe nnayambala ebibukutu, Ne mbafuukira eŋŋombo. |
|
| 12 |
|
| Abatuula mu mulyango banjogerako, Era ndi luyimba lwa batamiivu. |
|
| 13 |
|
| Naye nze, okusaba kwange kuli eri ggwe, Ayi Mukama, mu kiseera eky'okukkirizibwamu; Ayi Katonda, mu kusaasira kwo okungi, Onziremu mu mazima ag'obulokozi bwo. |
|
| 14 |
|
| Onnyinyulule mu bitosi, nneme okutubira; Ndokoke eri abo abankyawa ne mu mazzi ag'eddubi. |
|
| 15 |
|
| Amazzi amangi galeme okunsaanyaawo, Newakubadde obunnya buleme okummira, oba obunnya okunzigalira mu kamwa k'abwo. |
|
| 16 |
|
| Onziremu, Ayi Mukama; kubanga ekisa kyo kirungi; Ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, onkyukire. |
|
| 17 |
|
| So tokisa amaaso go omuddu wo; Kubanga ndi mu nnaku; oyanguwe okunziramu. |
|
| 18 |
|
| Osemberere emmeeme yange, oginunule, Onfuule ow'eddembe olw'abalabe bange. |
|
| 19 |
|
| Ggwe omanyi bwe nvumibwa, bwe nkwatibwa ensonyi, bwe nnyoomebwa; Abalabe bange bonna bali mu maaso go. |
|
| 20 |
|
| Okuvumibwa kumenye omutima gwange; era njijudde ennaku. Nnoonyezza anansaasira, naye tewabadde n'omu. Era abanaansanyusa, naye ne siraba. |
|
| 21 |
|
| Era bampa omususa okuba emmere yange; Era bwe nnalumibwa ennyonta ne bannywesa omwenge omukaatuufu. |
|
| 22 |
|
| Emmeeza yaabwe eri mu maaso gaabwe ebeerenga ekyambika gyebali; Era bwe baba mu mirembe, gifuukenga omutego. |
|
| 23 |
|
| Amaaso gaabwe gabenga mu kizikiza, baleme okulaba; Okankanyenga ebiwato byabwe ennaku zonna. |
|
| 24 |
|
| Obafukengako ekiruyi kyo, N'obusungu bwo obukambwe bubatuukengako. |
|
| 25 |
|
| Ennyumba yaabwe erekebwenga, So omuntu yenna alemenga okubeera mu weema zaabwe. |
|
| 26 |
|
| Kubanga baayigganya oyo gw'obonereza; Era boogera ku nnaku zaabo b'ofumise. |
|
| 27 |
|
| Oyongerenga ekibonerezo ku kibonerezo ku bo; So balemenga okuyingira mu butuukirivu bwo. |
|
| 28 |
|
| Basangulibwenga okuva mu kitabo ky'obulamu, So balemenga okuwandiikibwa awamu n'abatuukirivu. |
|
| 29 |
|
| Naye nze ndi mwavu, era ndi mu bulumi; Obulokozi bwo, Ayi Katonda, bungulumize waggulu. |
|
| 30 |
|
| Nnaatenderezanga erinnya lya Katonda n'oluyimba, Naamugulumizanga n'okwebaza. |
|
| 31 |
|
| Era ebyo binaasanyusanga Mukama okusinga ente, Ente erina amayembe n'ebinuulo. |
|
| 32 |
|
| Abo abanyigirizibwa bakirabye ne basanyuka; Mmwe abanoonya Katonda, omutima gwammwe gube omulamu. |
|
| 33 |
|
| Kubanga Mukama awulira abaavu, So tanyooma basibe be. |
|
| 34 |
|
| Eggulu n'ensi bimutenderezenga, Ennyanja ne byonna ebigitambuliramu. |
|
| 35 |
|
| Kubanga Katonda alirokola Sayuuni, era alizimba ebibuga bya Yuda; Nabo balituula omwo, ne bagirya. |
|
| 36 |
|
| Era n'ezzadde ly'abaddu be baligisikira; N'abo abaagala erinnya lye balituula omwo. |
|
|
|
|