Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ayi Mukama Katonda wange, nzirukira gy'oli. Ndokola era mponya bonna abanjigganya, |
| 2 |
| baleme kuntaagula ng'empologoma, ne nkavvulwa nga tewali anamponya. |
| 3 |
| Ayi Mukama Katonda wange, oba nga nakola ekintu nga kino: nga nayonoona, |
| 4 |
| oba nga nakola mukwano gwange ekintu ekibi, wadde okulumya omulabe wange awatali nsonga, |
| 5 |
| kale omulabe anjigganye era ankwate, ansambajjire wansi ku ttaka era anzite, andeke nga ngalamidde mu nfuufu. |
| 6 |
| Ayi Mukama, situka n'obusungu weesimbewo, olwanyise abalabe bange abakambwe. Golokoka ayi Mukama, ggwe eyalagira wabeewo obwenkanya. |
| 7 |
| Abantu bonna bakuŋŋaane era bakwetooloole, obafuge ng'oli waggulu. |
| 8 |
| Ayi Mukama, asalira abantu bonna omusango, sala omusango gwange nsinge, kubanga omanyi bwe siriiko musango. |
| 9 |
| Ggwe Katonda omutuukirivu akebera emitima n'ebirowoozo, malawo ettima ly'ababi, onyweze abatuukirivu. |
| 10 |
| Katonda ye ngabo mwe nneewogoma, alokola ab'omutima omulongoofu. |
| 11 |
| Katonda asala emisango mu bwenkanya, bulijjo asunguwalira ababi. |
| 12 |
| Bwe batakyuka ne beenenya, ajja kuwagala ekiso kye. Aleeze omutego gwe ogw'obusaale okulasa. |
| 13 |
| Ategese ebissi ebiribatta, ayengerezza obusaale bwe. |
| 14 |
| Laba omubi bw'alowooza okukola ekibi! Ajjudde ettima, era ayogera eby'obulimba. |
| 15 |
| Obunnya bw'asima n'awuukuula, ye abugwamu yennyini. |
| 16 |
| Ettima lye limuddira, n'obukambwe bwe bulumya ye yennyini. |
| 17 |
| Nneebazanga Mukama kubanga mwenkanya, nnaayimbanga okutendereza Mukama Atenkanika. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/007.mp3
150
7