×

BIBULIYA ENTUKUVU

Zabbuli 7

1
Okukungubaga kwa Dawudi kwe yayimbira Omukama olwa Kuusi Omubenyamiini.
2
Ayi Mukama, Katonda wange, nzirukidde gy'oli; ntaasa bonna abanjigganya, omponye.
3
Kubanga bandintaagula ng'empologoma, ne banjuzaayuza awatali n'adduukirira.
4
Ayi Mukama, Katonda wange, oba ekyo nakikola, oba mu mikono gyange mulimu obutabeera mwenkanya,
5
Oba nakola mukwano gwange ekibi, oba omulabe wange namunyaga awatali nsonga,
6
kale omulabe ampondere ankwate; obulamu bwange abulinnyirire ku ttaka, n'ekitiibwa kyange akiziike mu nfuufu.
7
Situka, ayi Mukama, mu busungu bwo; situka olwanyise obuswandi bw'abalabe bange. Zuukuka, ayi Katonda wange, owe ennamula.
8
Olukuŋŋaana lw'abantu lukwebungulule; ng'oyima waggulu lukubirize.
9
Omukama alamula amawanga; nnamula, ayi Mukama, ng'osinziira ku butuukirivu bwange, ng'osinziira ku bulungi bwange, ayi Ali Waggulu Ddala.
10
Komya obwonoonefu bw'ababi; abatuukirivu bawe banywere, ayi Katonda omutuukirivu, ggwe awenja emitima n'emmeeme.
11
Engabo yange ye Mukama Ali Waggulu Ddala, oyo alokola ab'omutima omuluŋŋamu.
12
Katonda mulamuzi mutuukirivu; Katonda asunguwala buli kanaku.
13
Bw'ateenenya, ajja kuwagala ekitala kye, ajja kubwama aleege akasaale ke.
14
Ategese ebissi eby'akabenje; ategese obusaale bwe okuli ebitawuliro.
15
Mulabe, olubuto afuna lwa bugwenyufu, enda n'aba na ya bulwa, n'azaala bulimba.
16
Asima obuya, n'abuwuukuula, ate n'agwa mu bunnya yennyini bw'asimye.
17
Effujjo ly'akola lirimuddira ku mutwe gwe; emitawaana gye girikka mu kawompo ke.
18
Nze nzija kutenda Omukama olw'obutuukirivu bwe, nzija kuyimba erinnya ly'Omukama Ali Waggulu Ddala.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Save Notes