×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 7

1
Ayi Mukama, Katonda wange, gwe buddukiro bwange, Ndokola, omponye bonna abanjigganya,
2
Baleme kuntaagula ng'empologoma, N'empalulwa nga tewali anaamponya.
3
Ayi Mukama, Katonda wange, oba nga nnakola ekintu nga kino: Nga nnayonoona,
4
Oba nga nnakola mukwano gwange obubi, Oba okulumya omulabe wange awatali nsonga,
5
Kale omulabe wange anjigganye era ankwate, Anninnyiririre wansi mu ttaka anzite, Andeke nga ngalamidde mu nfuufu.
6
Yimuka, ayi Mukama, mu busungu bwo, Weesimbewo olwanyise abalabe bange abakambwe. Golokoka Katonda wange, osalewo mu bwenkanya.
7
Leeta abantu bonna bakungaane bakwetooloole, Obafuge ng'osinzira waggulu.
8
Ayi Mukama, asalira abantu bonna omusango, Sala omusango gwange nsinge, kubanga omanyi nga siriiko musango.
9
Gwe Katonda omutuukirivu akebera emitima n'ebirowoozo, komya okwonoona kw'ababi, Onyweze abatuukirivu.
10
Katonda ye ngabo mwe nneewogoma, Alokola abalina omutima ogw'amazima.
11
Katonda ye musazi w'emisango omutuukirivu, era bulijjo asunguwalira ababi.
12
Omuntu bw'atakyuka neyeenenya, Katonda ajja kuwagala ekitala kye. Aleeze omutego gwe, okulasa akasaale.
13
Era amuteekeddeteekedde ebintu ebirimutta, Ayengerezza obusaale bwe.
14
Laba, omubi alowooza okukola ekibi, Ajjudde ettima, era ayogera eby'obulimba.
15
Obunnya bw'asima n'awuukuula, Ye abugwamu yennyini.
16
Ettima lye limuddira, N'obukambwe bwe bulumya ye yennyini.
17
Neebazanga Mukama olw'obutuukirivu bwe. Nnaayimbanga okutendereza erinnya lya Mukama ali waggulu ennyo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes