Luganda Bible
|
| 1 |
| Oyanguwe, ai Katonda, okundokola; Oyanguwe okunnyamba, ai Mukama. |
| 2 |
| Bakwatibwe ensonyi baswale Abanoonya emmeeme yange: Bazzibwe ennyuma bajeezebwe Abasanyukira okufiirwa kwange. |
| 3 |
| Bazzibwe ennyuma olw'ensonyi zaabwe Aboogera nti Nyenya, nyenya. |
| 4 |
| Bonna abakunoonya bakusanyukirenga bajaguzenga; N'abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti Katonda agulumizibwenga. |
| 5 |
| Naye nze ndi mwavu, sirina kintu; Oyanguwe okujja gye ndi, ai Katonda: Ggwe oli mubeezi wange era omulokozi wange; Ai Mukama, tolwawo. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/070.mp3
150
70