×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 71

1
Ayi Mukama, nzirukira gy'oli, tondeka kuswala.
2
Nnyamba ontaase, kubanga oli mulungi, mpulira ondokole.
3
Obe ekiddukiro kyange ekinkuuma, ekigo kyange ekigumu mwe mponera, kubanga ggwe kiddukiro kyange era ekigo kyange.
4
Ayi Katonda wange, mponya omwonoonyi, nzigya mu mikono gy'omubi era omukambwe.
5
Ayi Mukama Katonda, essuubi lyange liri mu ggwe, nneesiga ggwe okuviira ddala mu buto bwange.
6
Ggwe wampanirira okuviira ddala lwe nazaalibwa, ggwe wanzigya mu nda ya mmange. Nnaakutenderezanga bulijjo.
7
Obulamu bwange bwewuunyisa bangi, naye ggwe w'amaanyi, ggwe ontaasa.
8
Nkutendereza olunaku lwonna, ne nkugulumiza.
9
Kaakano tonsuula nga nkaddiye, tonjabulira nga sikyalina maanyi.
10
Abalabe bange banjogerako, ne bateesa nga baagala okunzita.
11
Bagamba nti: “Katonda amwabulidde. Mumugoberere mumukwate, tewali anaamuyamba.”
12
Ayi Katonda, tombeera wala. Ayi Katonda wange, yanguwa okunnyamba.
13
Abannumba bawangulwe bazikirizibwe, abaagala okunnumya baswazibwe banyoomebwe.
14
Naye nze nnaasuubiranga bulijjo nnaayongeranga okukutendereza.
15
Nnaatendanga ebirungi by'okola, olunaku lwonna nnaayogeranga ku by'okola okulokola, newaakubadde nga sisobola kubitegeera.
16
Nnaatenderezanga obuyinza bwo, ayi Mukama Katonda. Nnaatenderezanga obutuukirivu bwo, obubwo bwokka.
17
Ayi Katonda, wanjigiriza okuva mu buto bwange era ne kati nkyayogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
18
Kaakati nga nkaddiye, nga mmeze n'envi, tonjabulira, ayi Katonda. Beera nange, mmanyisenga amaanyi go, n'obuyinza bwo emirembe egijja.
19
Obutuukirivu bwo, ayi Katonda bugulumivu okutuuka ku ggulu. Ggwe eyakola ebikulu, ayi Katonda, tewali ali nga ggwe.
20
Ggwe eyandeka ne mbonaabona nnyo era ggwe olinzizaamu amaanyi, onzigye emagombe.
21
Olinnyongera ekitiibwa, n'oddamu okunsanyusa.
22
Nnaakutenderezanga nga nkuba endongo, kubanga oli mwesigwa, ayi Katonda wange. Nnaakutenderezanga nga nnyimba ku nnanga, ayi ggwe Omutuukirivu wa Yisirayeli.
23
Nnaasanyukanga n'omutima gwange gwonna nga nnyimba okukutendereza, kubanga wandokola.
24
Olunaku lwonna nnaayogeranga ku bulungi bwo, kubanga abaagala okunkolako akabi bakwatiddwa ensonyi, baswaziddwa.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes