×

BIBULIYA ENTUKUVU

Zabbuli 71

1
Ayi Mukama, nzirukidde gy'oli; tondekanga kuswala mirembe gyonna;
2
mu butuukirivu bwo mponya, ndokola. Wunzikira gye ndi okutu kwo ondokole.
3
Mbeerera lwazi lwa buddukiro, ekigo ekinywevu bulijjo; walagira okumponya, anti ggwe lwazi lwange, ekigo kyange.
4
Ayi Katonda wange, nsika mu mikono gy'omubi, mu kikonde ky'ow'ettima omukambwe.
5
Kubanga, ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange, obwesige bwange, ayi Mukama, okuva mu buvubuka bwange.
6
Okuva lwe nazaalibwa, nnyweredde ku ggwe; okuva mu nda ya nnyabo, ggwe onkuuma; bulijjo nnaakutenderezanga.
7
Bangi mbafuukidde ekikuuno, naye ggwe buddukiro bwange obunywevu.
8
Akamwa kange kajjudde ettendo lyo, olunaku lwonna kayimba ekitiibwa kyo.
9
Tonsuulirira mu kaseera ak'obukadde; tonjabulira kati ng'amaanyi gampwedde.
10
Anti abalabe bange banjogerako; abaliimisa obulamu bwange banneekobera wamu;
11
bagamba nti: “Katonda amwabulidde, mumuwondere, mumukwate, kubanga tewakyali amutaasa.”
12
Ayi Katonda, tonneesuuba; ayi Katonda wange, yanguwa okunnyamba.
13
Baswale, baggwemu ensa, abalwanyisa omwoyo gwange; abanoonya okunkola obubi babikkibwe ebivumo n'obuswavu.
14
Naye nze bulijjo nzija kusuubiranga; buli lunaku naddiŋŋananga ettendo lyo.
15
Akamwa kange kalirangirira obutuukirivu bwo, olunaku lwonna obulokozi bwo, anti n'okumanya simanyi we bwenkana.
16
Ndijja ne nnangirira ebikuuno byo, ayi Katonda Omuyinza; ndijjukira obutuukirivu bwo, ate obubwo wekka.
17
Ayi Katonda, wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange, n'okutuusa kati ndojja ebyewuunyisa byo.
18
Na kati mu bukadde, nga mbunye envi, ayi Katonda, tonjabuliranga, ngira ntendera ezzadde lino ebikuuno byo, n'abalijja bonna, obuyinza bwo.
19
Obutuukirivu bwo, ayi Katonda butuuka ku ggulu; wakola ebinene, ayi Katonda, ani akwegezaako?
20
Newandibadde ng'ondabizza ennaku, ennyingi ate enkakali, kyokka oluvannyuma olimpa obulamu nate, nate olinzigyayo eyo ekkuzimu mu ttaka.
21
Olinnyongera obukulu, n'onkubagiza nate.
22
Nange ndikugulumiza ku ntongooli olw'obwesigwa bwo, ayi Katonda, ndikuyimbira ku nnanga, ayi Omutuukirivu wa Yisirayeli.
23
Emimwa gyange girijaganya bwe ndiba nkuyimbira, nze gwe wanunula.
24
Olunaku lwonna olulimi lwange lulimanyisa obutuukirivu bwo; kubanga abanoonya okunzikiriza baswadde, batoowaziddwa.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Save Notes