|
| 1 |
|
| Mu ggwe, Ayi Mukama, mwe neekweka, tondeka kuswazibwa. |
|
| 2 |
|
| Mu butuukirivu bwo ondokole, omponye; ontegere okutu ondokole. |
|
| 3 |
|
| Onfuukire olwazi obuddukiro bwange, ekifo eky’amaanyi; ondokole kubanga oli lwazi lwange era ekiddukiro kyange. |
|
| 4 |
|
| Ayi Katonda wange omponye mu mukono gw’ababi, omponye abantu abatali batuukirivu era abakambwe. |
|
| 5 |
|
| Kubanga ggwe, Ayi Mukama, ggwe ssuubi lyange; ggwe, ggwe neesiga, okuviira ddala mu buvubuka bwange. |
|
| 6 |
|
| Neesiga ggwe kasookedde nzalibwa; ggwe wanziggya mu lubuto lwa mmange. Nnaakutenderezanga ennaku zonna. |
|
| 7 |
|
| Eri abangi nafuuka; naye ggwe kiddukiro kyange eky’amaanyi. |
|
| 8 |
|
| Akamwa kange kajjudde ettendo lyo, nga ntenda ekitiibwa kyo obudde okuziba. |
|
| 9 |
|
| Tonsuula mu kiseera kyange eky’obukadde. Tondekerera ng’amaanyi gampweddemu. |
|
| 10 |
|
| Kubanga abalabe bange banjogerako; abo abaagala okunzita bansalira olukwe. |
|
| 11 |
|
| Bagamba nti, “Katonda amulese, ka tumugobe tumukwate, kubanga taliiko anaamuwonya.” |
|
| 12 |
|
| Ayi Katonda, tombera wala, Ayi Katonda wange, yanguwa ojje ombeere. |
|
| 13 |
|
| Abo abampawaabira bazikirizibwe nga bajjudde ensonyi, abanoonya okunnumya baswale era banyoomebwe. |
|
| 14 |
|
| Naye nze nnaabanga n’essuubi ennaku zonna. Era nneeyongeranga okukutenderezanga. |
|
| 15 |
|
| Akamwa kange kanaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba; nnaayogeranga ku bulokozi bwo, wadde siyinza kubupima. |
|
| 16 |
|
| Nnaatambuliranga mu maanyi go, Ayi Mukama Katonda, era ne ntegeezanga nti ggwe wekka ggwe mutuukirivu. |
|
| 17 |
|
| Ayi Katonda, ggwe wanjigiriza okuva mu buvubuka bwange; n’okutuusa leero nkyatenda ebikolwa byo eby’ekitalo. |
|
| 18 |
|
| Ne bwe ndiba nga nkaddiye nga mmeze n’envi, tonjabuliranga, Ayi Katonda, okutuusiza ddala nga mmaze okutendera abo abaliddawo amaanyi go amangi, n’okumanyisa emirembe egigenda okujja obuyinza bwo. |
|
| 19 |
|
| N’obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, butuuka mu ggulu. Ggw’okoze ebikulu, Ayi Katonda, ani akwenkana? |
|
| 20 |
|
| Newaakubadde wandeka ne mbonaabona nnyo bwe ntyo, ggw’olinzizaamu obulamu, n’ompa amaanyi amaggya, n’onnyimusa okuva mu kinnya ekiwanvu ennyo wansi w’ensi. |
|
| 21 |
|
| Olinnyongerako ekitiibwa n’oddamu okunsanyusa. |
|
| 22 |
|
| Nnaakutenderezanga ne nnanga ey’enkoba olw’obwesigwa bwo, Ayi Katonda wange; nnaakutenderezanga n’entongooli, Ayi ggwe Omutukuvu wa Isirayiri. |
|
| 23 |
|
| Nnaayimusanga eddoboozi lyange olw’essanyu nga nkutendereza, nze gw’onunudde! |
|
| 24 |
|
| Olulimi lwange nalwo lunaayogeranga ku bikolwa byo eby’obutuukirivu obudde okuziba, kubanga abo ababadde baagala okunkola akabi otabuddetabudde enkwe zaabwe ne baswazibwa. |
|
|
|
|