1
Eri ggwe, Ayi Mukama, gye nzirukira; Nnemenga okukwatibwa ensonyi ennaku zonna!
2
Ondokole olw'obutuukirivu bwo, omponye; Ontegere okutu, ondokole!
3
Obeerenga gye ndi olwazi olw'okutuulangako, we nnaayinzanga okweyuna bulijjo; Ggwe olagira okundokola; Kubanga ggwe oli lwazi lwange era ekigo kyange.
4
Omponye, Ayi Katonda wange, mu mukono gw'omubi, Mu mukono gw'omuntu atali mutuukirivu, omukambwe.
5
Kubanga ggwe oli ssuubi lyange, Ayi Mukama Katonda; Ggwe gwe nneesiga okuva mu buto bwange.
6
Ggwe wampanirira okuva mu lubuto; Ggwe wanzigya mu byenda bya mmange. Ggwe gwe nnaatenderezanga ennaku zonna.
7
Nninga ekyewuunyisa eri abantu abangi; Naye ggwe oli kiddukiro kyange eky'amaanyi.
8
Akamwa kange kanajjulanga ettendo lyo, Nnenjolesa ekitiibwa kyo okuzibya obudde.
9
Tonsuula mu biro eby'obukadde; Tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.
10
Kubanga abalabe bange banjogerako; N'abo abateega emmeeme yange bateesezza wamu,
11
Nga boogera nti, “Katonda amulese, Mumugoberere mumukwate; kubanga tewali anaamuwonya.”
12
Ayi Katonda, tombeera wala; Ayi Katonda wange, yanguwa okunnyamba.
13
Bakwatibwe ensonyi bazikirire abakyawa emmeeme yange; Baswazibwe banyoomebwe abaagala okunkola obubi.
14
Naye nnaasuubiranga ennaku zonna, Era nnaayongeranga okukutenderezanga bulijjo.
15
Akamwa kange kanaatendanga obutuukirivu bwo, N'obulokozi bwo okuzibya obudde; Kubanga omuwendo gwabyo sisobola kugutegeera.
16
Nnaatenderezanga ebikolwa eby'amaanyi ebya Mukama Katonda, Nnaayongeranga ku butuukirivu bwo, ku bubwo bwokka.
17
Ayi Katonda, ggwe wanjigirizanga okuva mu buto bwange; Era okutuusa leero nnaabuuliranga ebikolwa byo eby'ekitalo.
18
Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, Ayi Katonda, tondekanga; Okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, N'obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.
19
Era n'obutuukirivu bwo, Ayi Katonda, bugulumivu nnyo, Ggwe eyakola ebikulu, Ayi Katonda, afaanana nga ggwe ye ani?
20
Ggwe eyandaga ebibonoobono ebingi ebizibu, Olinzuukiza nate, Era olininnyisa nate okuva mu bya wansi by'ensi.
21
Oyongerenga bw'otyo obukulu bwange, Okyukenga nate onsanyuse.
22
Era nnaakutenderezanga n'endere, Amazima go ge nnaatenderezanga, Ayi Katonda wange; Ggwe gwe nnaatenderezanga nga nnyimba mu nnanga, Ayi ggwe Omutukuvu wa Isiraeri.
23
Emimwa gyange ginaasanyukanga nnyo bwe nnaayimbanga okukutendereza; N'emmeeme yange gye wanunula.
24
Era n'olulimi lwange lunaayogeranga ku butuukirivu bwo okuzibya obudde, Kubanga bakwatiddwa ensonyi, baswazibbwa abaagala okunkola obubi.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.