×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 72

1
Ayi Katonda, kabaka muwe alamulenga nga ggwe, muwe ku mazima go
2
alyoke afugenga abantu bo mu mazima, n'abanyigirizibwa abafugenga bulungi.
3
Ensi ebeeremu emirembe, ebeere bulungi.
4
Kabaka alabirire abaavu, ayambe abali mu bwetaavu, amenye ababanyigiriza.
5
Abantu bakusinzenga emirembe gyonna, enjuba n'omwezi gye birimala nga bikyayaka.
6
Kabaka abe ng'enkuba etonnya mu nnimiro, abe ng'oluwandaggirize olufukirira ettaka.
7
Mu mulembe gwe abalungi balifuna omukisa, walibaawo emirembe mingi, okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka.
8
Alifuga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja; okuva ku Mugga Ewufuraate okutuuka ensi gy'ekoma.
9
Ababeera mu ddungu balimufukaamirira, n'abalabe be balikomba enfuufu.
10
Bakabaka b'e Tarusiisi n'ab'oku bizinga balimuleetera ebirabo. Bakabaka b'e Buwarabu n'ab'Etiyopiya nabo balimuwa ebirabo.
11
Bakabaka bonna balimuvuunamira, amawanga gonna ganaamuweerezanga,
12
kubanga adduukirira omunaku amukaabirira, n'omwavu atalina buyambi.
13
Asaasira abaavu n'abanaku, awonya obulamu bw'abateeyamba.
14
Abawonya okujoogebwa n'okuyisibwa obubi, obulamu bwabwe abuyita bwa muwendo.
15
Awangaale! Aweebwe ku zaabu ow'e Buwarabu. Abantu bamusabirenga bulijjo, basiibenga nga bamusabira omukisa gwa Katonda.
16
Ensi ebeere mu kyengera, obusozi bujjule ebibala, bibeere bingi ng'eby'omu Lebanooni. Ebibuga bijjule abantu, ng'ettale bwe lijjula omuddo.
17
Erinnya lye lijjukirwenga bulijjo, libe lya lubeerera, ng'enjuba. Abantu bonna beeyagalizenga omukisa ng'ogugwe. Amawanga gonna gamuyitenga wa mukisa.
18
Katonda wa Yisirayeli atenderezebwe yekka akola ebyamagero.
19
Erinnya lye eryekitiibwa litenderezebwenga emirembe gyonna. Ensi zonna zijjule ekitiibwa kye. Amiina era Amiina.
20
Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yesse kukomye awo.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes