|
| 1 |
|
| Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya, ne mutabani we omuwe obutuukirivu, |
|
| 2 |
|
| alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu, n’abaavu abalamulenga mu mazima. |
|
| 3 |
|
| Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana n’obusozi bubaleetere obutuukirivu. |
|
| 4 |
|
| Anaalwaniriranga abaavu, n’atereeza abaana b’abo abeetaaga, n’omujoozi n’amusaanyaawo. |
|
| 5 |
|
| Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma okwaka mu mirembe gyonna. |
|
| 6 |
|
| Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa, afaanane ng’oluwandaggirize olufukirira ensi. |
|
| 7 |
|
| Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe, n’okufuga kwe kujjule emirembe okutuusa omwezi lwe gulikoma okwaka! |
|
| 8 |
|
| Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, n’okuva ku mugga Fulaati okutuuka ku nkomerero z’ensi! |
|
| 9 |
|
| Ebika eby’omu malungu bimugonderenga, n’abalabe be bamujeemulukukire beekulukuunye ne mu nfuufu. |
|
| 10 |
|
| Bakabaka b’e Talusiisi n’ab’oku bizinga eby’ewala bamuwenga omusolo; bakabaka b’e Syeba n’ab’e Seeba bamutonerenga ebirabo. |
|
| 11 |
|
| Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge; amawanga gonna ganaamuweerezanga. |
|
| 12 |
|
| Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga, n’omwavu ne kateeyamba ataliiko mwasirizi. |
|
| 13 |
|
| Anaasaasiranga omunafu n’omwavu; n’awonya obulamu bwa kateeyamba. |
|
| 14 |
|
| Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe; kubanga obulamu bwabwe bwa muwendo mungi gy’ali. |
|
| 15 |
|
| Awangaale! Aleeterwe zaabu okuva e Syeba. Abantu bamwegayiririrenga era bamusabirenga emikisa buli lunaku. |
|
| 16 |
|
| Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi, ebikke n’entikko z’ensozi. Ebibala byayo byale ng’eby’e Lebanooni; n’abantu baale mu bibuga ng’omuddo ogw’oku ttale. |
|
| 17 |
|
| Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna, n’okwatiikirira kwe kube kwa nkalakkalira ng’enjuba. Amawanga gonna ganaaweebwanga omukisa ku lu lw’erinnya lye, era abantu bonna bamuyitenga aweereddwa omukisa. |
|
| 18 |
|
| Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri, oyo yekka akola ebyewuunyisa. |
|
| 19 |
|
| Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe! Ensi yonna ejjule ekitiibwa kye. Amiina era Amiina! |
|
| 20 |
|
| Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo. |
|
|
|
|