×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 72

1
Ayi Katonda owenga kabaka alamulenga emisango gyo, mu mazima; Era owenga obutuukirivu bwo omwana wa kabaka!
2
Anaasaliranga abantu bo emisango egy'obutukirivu, N'abaavu balamulwenga mu bwenkanya.
3
Ensozi zinaaleeteranga abantu emirembe, N'obusozi, bunnajjulanga obutuukirivu!
4
Anaasaliranga omusango abaavu ab'omu bantu, Anaalokolanga abaana b'abo abatalina bintu, Era anaamenyaamenyanga omujoozi.
5
Abantu bakusinzenga ng'enjuba ekyaliwo, Era ng'omwezi gukyayaka, emirembe gyonna!
6
Kabaka abe ng'enkuba bw'etonnya ku ssubi erisaliddwa, Ng'empandaggirize ezifukirira ensi!
7
Mu nnaku ze abatuukirivu banaalabanga omukisa, Era wanaabangawo emirembe emingi, okutuusa omwezi lwe guliggwaawo!
8
Era anaafuganga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, Era okuva ku mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi!
9
Abatuula mu ddungu balimufukaamirira; N'abalabe be balikomba enfuufu!
10
Bakabaka b'e Talusiisi n'ab'oku Bizinga banaaleetanga ebirabo, Bakabaka b'e Syeba n'ab'e Seeba banaawangayo ebitone!
11
Weewaawo, bakabaka bonna banaavuunamiranga mu maaso ge, Amawanga gonna ganaamuweerezanga!
12
Kubanga anaawonyanga omunafu bw'anaakaabanga, N'omwavu, n'atalina buyambi.
13
Anaasaasiranga omwavu n'omunafu, N'emmeeme z'abanafu anaazirokolanga.
14
Anaanunulanga emmeeme zaabwe mu kujoogebwa n'ettima; N'omusaayi gwabwe gunaabanga gwa muwendo mungi mu maaso ge.
15
Era banaabanga balamu; naye anaaweebwanga ku zaabu ey'e Syeba! Era abantu banaamusabiranga bulijjo; Banaamwebazanga okuzibya obudde!
16
Wanaabangawo emmere enkalu nnyingi mu nsi ku ntikko y'ensozi; Ebibala byayo binaabaanga bingi ng'eby'omu Lebanooni; Ebibuga bijjule abantu, ng'ettale bwe lijjula omuddo!
17
Erinnya lye linaabeereranga emirembe gyonna; Erinnya lye linaalwangawo ng'enjuba! N'abantu banaalabanga omukisa mu ye; Amawanga gonna ganaamuyitanga wa Mukisa!
18
Yeebazibwenga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri, Akola eby'amagero yekka.
19
N'erinnya lye ery'ekitiibwa lyebazibwenga emirembe gyonna; Era ensi zonna zijjuzibwenga ekitiibwa kye! Amiina, era Amiina!
20
Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kuwedde.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes