|
| 1 |
|
| Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri, Eri abo abalina emitima emirongoofu. |
|
| 2 |
|
| Naye nze, ebigere byange byali kumpi n'okugwa; Okutambula kwange kwabulako katono okuseerera. |
|
| 3 |
|
| Kubanga ab'amalala bankwasa obuggya, Bwe nnalaba ababi bwe balina omukisa. |
|
| 4 |
|
| Kubanga bafa tebalumwangako: Naye amaanyi gaabwe ganywera. |
|
| 5 |
|
| Tebalaba nnaku ng'abantu abalala; So tebabonyaabonyezebwa ng'abantu abalala: |
|
| 6 |
|
| Amalala kyegava gabeera ng'omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe; Ettima libabikka ng'ekyambalo. |
|
| 7 |
|
| Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu: Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala. |
|
| 8 |
|
| Baduula ne boogera eby'okujooga mu bubi: Boogera ebikulu. |
|
| 9 |
|
| Omumwa gwabwe bagutadde mu ggulu, N'olulimi lwabwe lutambulatambula mu nsi. |
|
| 10 |
|
| Abantu be kyebava bakomawo wano: N'amazzi ag'omu kikompe ekijjudde ne bagamalirawo ddala. |
|
| 11 |
|
| Era boogera nti Katonda amanya atya? Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo? |
|
| 12 |
|
| Laba, abo be babi; Era beeyongera mu bugagga nga balina emirembe ennaku zonna. |
|
| 13 |
|
| Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange, Ne nnaaba mu ngalo zange n'obutayonoona; |
|
| 14 |
|
| Kubanga nabonyaabonyezebwa okuzibya obudde, Ne nkangavvulwa buli nkya. |
|
| 15 |
|
| Singa nayogera nti Ka njogere bwe ntyo; Laba, nandikkusizza emirembe gy'abaana bo. |
|
| 16 |
|
| Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo, Kyanteganya ne kinnema; |
|
| 17 |
|
| Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda, Ne ndowooza ebibatuukako ku nkomerero. |
|
| 18 |
|
| Mazima obateeka mu bifo eby'obuseerezi: Obasuulira ddala ne bazikirira. |
|
| 19 |
|
| Nga bafuuse ekifulukwa mu kaseera akatono Entiisa zibamalirawo ddala. |
|
| 20 |
|
| Ng'ekirooto bwe kiri aloose ng'azuukuse; Era bw'otyo naawe, ai Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe. |
|
| 21 |
|
| Kubanga omutima gwange gwannuma, N'emmeeme yange yanfumita; |
|
| 22 |
|
| Bwe nnali ng'ensolo bwe ntyo ne ssitegeera; Nali nsolo mu maaso go. |
|
| 23 |
|
| Naye ndi wamu naawe ennaku zonna: Onkutte omukono gwange ogwa ddyo. |
|
| 24 |
|
| Ononnuŋŋamyanga n'amagezi go, Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa. |
|
| 25 |
|
| Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala wabula ggwe. |
|
| 26 |
|
| Omubiri gwange n'omutima gwange bimpwako: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna. |
|
| 27 |
|
| Kubanga, laba, abakuli ewala balizikirira: Wabafaafaaganya bonna abagenda okwenda ne bakuleka. |
|
| 28 |
|
| Naye kirungi nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange, Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna. |
|
|
|
|