|
| 1 |
|
| Ddala Mukama akolera Yisirayeli ebirungi, n'ab'emitima emirongoofu. |
|
| 2 |
|
| Naye nze nali nnaatera okuterebuka, okukkiriza kwange nga kuseebengerera. |
|
| 3 |
|
| Abeekulumbaza nabakwatirwa obuggya, nga ndaba ababi bwe bali obulungi. |
|
| 4 |
|
| Bo tebalina kibaluma, balamu era ba maanyi. |
|
| 5 |
|
| Tebabonaabona ng'abalala, tebalumwa ng'abalala. |
|
| 6 |
|
| Kyebava beeyambika amalala ng'omukuufu, ne beebunya obukambwe ng'ekyambalo. |
|
| 7 |
|
| Bagezze ne bakanuka amaaso, emitima gibajjudde obugwenyufu. |
|
| 8 |
|
| Baduula, era boogera bakudaala, beewaana ne batiisatiisa abalala. |
|
| 9 |
|
| Boogera ebinyooma Katonda ali mu ggulu, banyooma n'abantu be ku nsi. |
|
| 10 |
|
| Abantu kyebava bakyukira gye bali, bye boogera ne babikkiriza. |
|
| 11 |
|
| Ne bagamba nti: “Katonda alimanya atya? Ddala Atenkanika amanya?” |
|
| 12 |
|
| Ababi bwe batyo bwe baba. Bali bulungi bulijjo, bongera kugaggawala. |
|
| 13 |
|
| Mazima nteganidde bwereere okwekuuma obutayonoonanga? |
|
| 14 |
|
| Mbonaabona okuzibya obudde ne mbonerezebwa buli nkya. |
|
| 15 |
|
| Singa nayogera bwe ntyo, sandikoze ng'omu ku babo. |
|
| 16 |
|
| Nagezaako ndowooze ntegeere ekyo, ne nnemererwa ne nsirika. |
|
| 17 |
|
| Okutuusa lwe nayingirako mu kifo kya Katonda ekitukuvu, ne ntegeera enkomerero yaabwe. |
|
| 18 |
|
| Ddala obateeka awali obuseerezi, bagwe bazikirire. |
|
| 19 |
|
| Tebalwa kuggwaawo, ne bazikirizibwa entiisa. |
|
| 20 |
|
| Bayita ng'ekirooto ky'oku makya: ggwe Mukama w'oligolokokera, nga tewakyali gw'olabako. |
|
| 21 |
|
| Bwe nali ndowoolereza, ne nnumwa ne nennyamira. |
|
| 22 |
|
| Nali musiru ng'ensolo, nga sikutegeera ggwe. |
|
| 23 |
|
| Naye ndi wamu naawe bulijjo, era ggwe onkutte ku mukono. |
|
| 24 |
|
| Kaakano nnuŋŋamya ompabule, onnyingize mu kitiibwa oluvannyuma. |
|
| 25 |
|
| Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? Kiki ku nsi kye njagala okuggyako ggwe? |
|
| 26 |
|
| Nzenna ne bwe mba n'obunafu, mu nze Katonda ge maanyi. Ye ye wange emirembe gyonna. |
|
| 27 |
|
| Abakwewala balitokomoka, olizikiriza abatali beesigwa abakulekawo. |
|
| 28 |
|
| Naye nze kirungi nsemberere Katonda, ye gwe mba nfuula ekiddukiro kyange ndyoke mmanyisenga byonna by'akola. |
|
|
|
|