|
| 1 |
|
| Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri n’eri abo abalina omutima omulongoofu. |
|
| 2 |
|
| Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala era n’ebigere byange okuseerera. |
|
| 3 |
|
| Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya; bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo. |
|
| 4 |
|
| Kubanga tebalina kibaluma; emibiri gyabwe miramu era minyirivu. |
|
| 5 |
|
| Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala. So tebalina kibabonyaabonya. |
|
| 6 |
|
| Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago, n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo. |
|
| 7 |
|
| Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana; balina bingi okusinga bye beetaaga. |
|
| 8 |
|
| Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga. Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako. |
|
| 9 |
|
| Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu; n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu. |
|
| 10 |
|
| Abantu ba Katonda kyebava babakyukira ne banywa amazzi mangi. |
|
| 11 |
|
| Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya? Ali Waggulu Ennyo abitegeera?” |
|
| 12 |
|
| Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo; bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala. |
|
| 13 |
|
| Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona, n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango. |
|
| 14 |
|
| Naye mbonaabona obudde okuziba, era buli nkya mbonerezebwa. |
|
| 15 |
|
| Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti, nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo. |
|
| 16 |
|
| Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo; nakisanga nga kizibu nnyo, |
|
| 17 |
|
| okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda, ne ntegeera enkomerero y’ababi. |
|
| 18 |
|
| Ddala obatadde mu bifo ebiseerera; obasudde n’obafaafaaganya. |
|
| 19 |
|
| Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe! Entiisa n’ebamalirawo ddala! |
|
| 20 |
|
| Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi; era naawe bw’otyo, Ayi Mukama, bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa. |
|
| 21 |
|
| Omutima gwange bwe gwanyiikaala, n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze, |
|
| 22 |
|
| n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi, ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go. |
|
| 23 |
|
| Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo; gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo. |
|
| 24 |
|
| Mu kuteesa kwo onkulembera, era olintuusa mu kitiibwa. |
|
| 25 |
|
| Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe? Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe. |
|
| 26 |
|
| Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa; naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange, era ye wange ennaku zonna. |
|
| 27 |
|
| Kale laba, abo bonna abatakussaako mwoyo balizikirira; kubanga bonna abatakwesiga obamalirawo ddala. |
|
| 28 |
|
| Naye nze kye nsinga okwetaaga kwe kubeera okumpi ne Katonda wange. Ayi Mukama Katonda, nkufudde ekiddukiro kyange; ndyoke ntegeezenga abantu bonna ebikolwa byo eby’ekyewuunyo. |
|
|
|
|