×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 73

1
Mazima Katonda wa kisa eri Isiraeri, N'eri abo abalina emitima emirongoofu.
2
Naye nze, nali nnaatera okuterebuka, Okukkiriza kwange nga kuseebengerera.
3
Kubanga ab'amalala mbakwatirwa obuggya, Bwe ndaba ababi nga balina omukisa.
4
Bo tebalina kibaluma, Balamu era ba maanyi.
5
Tebalaba nnaku ng'abantu abalala; Tebabonaabona ng'abantu abalala.
6
Amalala kyegava gabeera ng'omukuufu ogwetooloola obulago bwabwe; Ettima libabikka ng'ekyambalo.
7
Amaaso gaabwe gabakanuse olw'obugevvu: Balina ebingi okukira omutima bye guyinza okwagala.
8
Baduula era boogera bakudaala, Beewaana ne batiisatiisa abalala.
9
Boogera ebinyooma Katonda ali mu ggulu, Banyooma n'abantu be ku nsi.
10
Abantu kyebaava bakyukira gyebali, Bye boogera ne babikkiriza.
11
Bagamba nti, “ Katonda alimanya atya? Era okumanya kuli mu oyo ali waggulu ennyo?”
12
Ababi bwe batyo bwe baba. Babeera bulungi bulijjo, beeyongera kugaggawala.
13
Mazima nnongooserezza bwereere omutima gwange, Ne nneekuuma obutayonoonanga.
14
Kubanga mbonaabona okuzibya obudde, Ne nkangavvulwa buli nkya.
15
Singa n'ayogera bwe ntyo, Sandibadde ng'omu ku baana bo.
16
Bwe nnalowooza bwe nnyinza okutegeera ekyo, Kyannema ne nsirika.
17
Okutuusa lwe nnagenda mu watukuvu wa Katonda, Ne ntegeera ebibatuukako ku nkomerero.
18
Mazima obateeka awali obuseerezi, bagwe bazikirire.
19
Tebalwa kuggwaawo, Ne bazikirizibwa entiisa.
20
Bayita ng'ekirooto eky'omuntu azuukuse; Ayi Mukama, bw'olizuukuka, olinyooma ekifaananyi kyabwe.
21
Kubanga omutima gwange gwannuma, N'emmeeme yange ne yennyamira.
22
Nali musiru nga ssitegeera, Nali ng'ensolo mu maaso go.
23
Naye ndi wamu naawe ennaku zonna: Onkutte omukono gwange ogwa ddyo.
24
Onoonnuŋŋamyanga n'amagezi go, Era oluvannyuma olinzikiriza okuyingira mu kitiibwa.
25
Ani gwe nnina mu ggulu wabula ggwe? So tewali mu nsi gwe njagala okuggyako ggwe.
26
Omubiri gwange n'omutima gwange biyinza okunafuwa: Naye Katonda ge maanyi g'omutima gwange n'omugabo gwange emirembe gyonna.
27
Kubanga, abakwewala balizikirira, Olizikiriza abatali beesigwa abakulekawo.
28
Naye kirungi nze nsemberere Katonda: Mukama Katonda mmufudde ekiddukiro kyange, Ndyoke njogerenga ku bikolwa byo byonna.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes