|
| 1 |
|
| Ai Katonda, kiki ekyatusuuza ennaku zonna? Kiki ekinyoosa obusungu bwo eri endiga ez'ettale lyo? |
|
| 2 |
|
| Ojjukire ekibiina kyo kye wagula edda, Kye wanunula okuba ekika eky'obusika bwo; N'olusozi Sayuuni, lwe watuulangamu. |
|
| 3 |
|
| Oyimuse ebigere byo ogende mu bifulukwa ebitavaawo, Obubi bwonna omulabe bwe yakola mu watukuvu. |
|
| 4 |
|
| Abalabe bo bawulugumye wakati mu kibiina kyo; Basimbye ebendera zaabwe okuba obubonero. |
|
| 5 |
|
| Bafaananye ng'abantu abayimusa Embazzi okutema ekisaka eky'omu kibira. |
|
| 6 |
|
| Ne kaakano bamenyaamenya emirimu gyawo gyonna emyole N'embazzi n'ennyondo. |
|
| 7 |
|
| Bookezza omuliro awatukuvu wo; Banyoomye ennyumba ey'erinnya lyo ne bagisuula wansi. |
|
| 8 |
|
| Boogedde mu mitima gyabwe nti Tubazikiririze ddala bonna bonna: Bookerezza ddala amakuŋŋaaniro gonna aga Katonda mu nsi. |
|
| 9 |
|
| Tetukyalaba bubonero bwaffe; Tewakyali nnabbi n'omu; So temuli n'omu mu ffe ategeera ebyo gye birituusa okubaawo. |
|
| 10 |
|
| Ai Katonda, omulabe alituusa wa okuvuma? Akukyawa alivvoola erinnya lyo emirembe gyonna? |
|
| 11 |
|
| Kiki ekikuddiriza omukono, omukono gwo ogwa ddyo? Oguggye mu kifuba kyo obazikirize. |
|
| 12 |
|
| Naye Katonda ye Kabaka wange edda n'edda lyonna, Aleeta obulokozi wakati mu nsi. |
|
| 13 |
|
| Wayawula ennyanja n'amaanyi go: Wamenya emitwe gy'ensolo mu mazzi. |
|
| 14 |
|
| Wamenyaamenya emitwe gya lukwata, Wamuwa okuba emmere y'abo abatuula mu ddungu. |
|
| 15 |
|
| Wasalamu ensulo n'omukka: Wakaza emigga eminene. |
|
| 16 |
|
| Emisana gigyo, era n'ekiro kikyo: Wakola omusana n'enjuba. |
|
| 17 |
|
| Wateekawo ensalo zonna ez'ensi: Wakola ekyeya ne ddumbi. |
|
| 18 |
|
| Ojjukire kino ng'abalabe bavumye, ai Mukama, Era ng'eggwanga essirusiru liboggoledde erinnya lyo. |
|
| 19 |
|
| Nkwegayiridde, towaayo emmeeme y'ejjiba lyo eri ensolo: Teweerabira bulamu obw'abaavu bo ennaku zonna. |
|
| 20 |
|
| Ojjukire endagaano: Kubanga ebifo eby'enzikiza eby'ensi bijjudde ennyumba ez'ettima. |
|
| 21 |
|
| Ajoogebwa alemenga okudda ng'akwatiddwa ensonyi, nkwegayiridde: Abaavu n'abanafu batenderezenga erinnya lyo. |
|
| 22 |
|
| Golokoka, ai Katonda, weewolereze ensonga yo, Ojjukire omusirusiru bw'azibya obudde okukuvuma. |
|
| 23 |
|
| Teweerabira ddoboozi lya balabe bo: Oluyoogaano lw'abo abakugolokokerako lulinnya bulijjo. |
|
|
|
|