|
| 1 |
|
| Ayi Katonda, lwaki watusuula ennaku zonna? Endiga ez'omu ddundiro lyo olizisunguwalira butamala? |
|
| 2 |
|
| Jjukira abantu be weefunira okuva edda, be wanunula babe eggwanga eriryo ddala. Jjukira Olusozi Siyooni kwe wabeeranga. |
|
| 3 |
|
| Lambula ebifo ebisigadde nga matongo. Mu kifo ekitukuvu, omulabe yazikiriza byonna. |
|
| 4 |
|
| Abalabe bo baawogganira mu kifo mw'otukuŋŋaanyiza, ne basimbamu bbendera zaabwe, okulaga bwe bawangudde. |
|
| 5 |
|
| Baafaanana ng'abakutte embazzi okutema emiti mu kibira. |
|
| 6 |
|
| Baamenya ebibajje byonna ne babyasisa embazzi n'ennyondo. |
|
| 7 |
|
| Ekifo kyo ekitukuvu baakikumako omuliro, Essinzizo lyo baalinyooma ne balizikiriza. |
|
| 8 |
|
| Baateesa okutuzikiririza ddala, ne bookya ebifo ebitukuvu byonna ebiri mu ggwanga. |
|
| 9 |
|
| Obubonero bwaffe obutukuvu tebukyaliwo tetukyalina na mulanzi. Era mu ffe tewali amanyi embeera eriwo lw'erikoma. |
|
| 10 |
|
| Ayi Mukama, abalabe balituusa wa okukuvuma? Erinnya lyo balirivvoola ennaku zonna? |
|
| 11 |
|
| Lwaki ogaana okuba ne ky'okolawo? Lwaki emikono gyo ogizingira ku kifuba kyo? |
|
| 12 |
|
| Naye obadde Kabaka waffe okuva edda, ayi Katonda. Ggwe Mulokozi waffe bulijjo. |
|
| 13 |
|
| Ennyanja wagigabanyaamu wabiri n'amaanyi go, wamulungula emitwe gy'agasolo mu mazzi. |
|
| 14 |
|
| Wabetenta emitwe gya Lukwata, ekikulejje ky'omu nnyanja, n'okigabula ab'omu ddungu. |
|
| 15 |
|
| Waggulira ensulo n'obugga, ate n'okaza emigga eminene. |
|
| 16 |
|
| Emisana n'ekiro bibyo, wateeka enjuba n'omwezi mu bifo byabyo. |
|
| 17 |
|
| Wateekawo ensalo zonna ez'ensi, n'oteekawo ebiseera eby'ekyeya n'eby'obutiti. |
|
| 18 |
|
| Naye jjukira ayi Mukama, abalabe bwe bakuvuma, n'ababi bwe bakunyooma. |
|
| 19 |
|
| Abantu bo abateeyinza, tobalekera balabe baabwe bakambwe. Obulamu bw'abanaku bo tobwerabira ennaku zonna. |
|
| 20 |
|
| Jjukira endagaano gye wakola naffe, kubanga eby'obukambwe bikolebwa buli awakutte ekizikiza mu nsi eno. |
|
| 21 |
|
| Abayigganyizibwa tobaleka kuswazibwa, abaavu n'abanaku bakutenderezenga. |
|
| 22 |
|
| Ayi Katonda yanguwa olwanirire ekitiibwa kyo, jjukira ng'ababi bwe bakuvuma olunaku lwonna. |
|
| 23 |
|
| Teweerabira okuboggola kw'abalabe bo, n'okuleekaana kw'abakuwalanya obutasalako. |
|
|
|
|