×

BIBULIYA ENTUKUVU

Zabbuli 74

1
Masukili ya Asafu Ayi Katonda, lwaki watwesammulira ddala obutaddira? Lwaki obusungu bwo buttunkira ku ndiga z'eddundiro lyo?
2
Jjukira ekibiina kyo kye weefunira okuva ddi na ddi, abantu be wanunula ng'obusika bwo, olusozi Siyoni kw'osula.
3
Tambula oyite mu matongo g'ennaku zonna; byonna omulabe bye yayonoona mu Kitukuvu.
4
Abakukyawa baakaga mu makkati g'ekibiina kyo; bendera zaabwe baazisimbayo ng'obubonero.
5
Baafaanana ng'abantu abawuumya embazzi ku miryango egy'engulu, mu kibira ekiziyivu.
6
Emyango gyakyo emiwunde bagitemye n'ensinjo n'ennyondo.
7
Ekitukuvu kyo bakyokezza omuliro; ekisulo ky'erinnya lyo bakijaajaamizza okutuukira ddala ku ttaka.
8
Baagambanga mu mutima gwabwe nti: “Tubazikiririze ddala bonna.” Baayokya wonna mu nsi buli kifo awaasinzibwanga Katonda.
9
Obubonero bwaffe tetukyabulaba; tewakyali mulanzi; ne mu ffe temuli amanyi ddi lwe binaakoma.
10
Ayi Katonda, omuwalanye anaatuusa wa okujolonga? Omulabe wa kuvuma linnya lyo mirembe gyonna?
11
Lwaki oggyawo omukono gwo? Lwaki ddyo wo omufunyira mu kikondoolo kyo?
12
Sso, ayi Katonda, ggwe kabaka wange okuva ddi na ddi; aleeta obulokofu mu nsi wonna.
13
Ggwe n'obuyinza bwo wayabuluzaamu ennyanja; wabetentera omutwe gwa ssessota mu mazzi.
14
Ggwe wabetenta emitwe gya Goonya, n'omuwa ebisolo by'omu ddungu bimulye.
15
Ggwe wazibukula ensulo n'emigga; ggwe wakaza emigga bulijjo egikulukuta.
16
Olunaku lulwo n'ekiro kikyo; ggwe wassaawo omwezi n'enjuba.
17
Ggwe wabanga enkingi zonna ez'ensi; ekyeya n'obutiti ggwe wabikola.
18
Jjukira omulabe nga bwe yajolonga, ayi Mukama; eggwanga eritategeera nga bwe lyavuma erinnya lyo.
19
Emyoyo gy'enjiibwa yo togigabulira gasolo; obulamu bw'abanaku bo leka kubwerabira nnaku zonna.
20
Endagaano yo gifeeko, kubanga obulikonda bwonna obw'ensi bufuuse nfo za bukambwe.
21
Anyigiriziddwa tomuleka kudda ng'aswadde; abaavu n'abawamma batende erinnya lyo.
22
Situka, ayi Katonda, weetaase; jjukira okuvumibwa omusiru kw'akuvumamu olunaku lwonna; atategeera kw'akuvumamu buli kanaku.
23
Leka kwerabira maloboozi g'abalabe bo; oluyoogaano lw'abakusitukiramu olugenda lukaalaama.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Gaabu Hantumya