|
| 1 |
|
| Ayi Katonda, lwaki otusuulidde ddala ennaku zonna? Obusungu bwo lwaki bunyookera ku ndiga z’omu ddundiro lyo? |
|
| 2 |
|
| Ojjukire abantu bo be wagula edda; ekika kye wanunula okuba ababo. Ojjukire olusozi Sayuuni gye wabeeranga. |
|
| 3 |
|
| Tambulatambulako mu bifo by’ekibuga olabe bwe byonooneddwa! Olabe omulabe nga bw’azikirizza ennyumba yo. |
|
| 4 |
|
| Abalabe bo baleekaanira mu kifo kyo gye twakuŋŋaaniranga; ne bagenda nga bakiramba n’ebendera zaabwe. |
|
| 5 |
|
| Beeyisa ng’abantu ababagalidde embazzi abatema emiti mu kibira. |
|
| 6 |
|
| Batemyetemye n’embazzi ebintu ebyole, era ne babissessebbula n’obubazzi. |
|
| 7 |
|
| Bookezza awatukuvu wo; ne bafaafaaganya ekifo kyo eky’Erinnya lyo. |
|
| 8 |
|
| Baateesa nga bagamba nti, “Tujja kubazikiririza ddala!” Baayokya dda amasinzizo ga Katonda gonna agali mu nsi eno. |
|
| 9 |
|
| Tetukyalaba ku bubonero bwo; ne bannabbi tewakyali n’omu. So tewali n’omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma. |
|
| 10 |
|
| Ayi Katonda, omulabe alituusa ddi ng’akuduulira? Omulabe anavvoolanga erinnya lyo ennaku zonna? Bazikirize. |
|
| 11 |
|
| Lwaki totuyambye n’omukono gwo ogwa ddyo? Kiki ekikukuumisa omukono gwo ogwa ddyo mu kifuba kyo? |
|
| 12 |
|
| Naye ggwe, Ayi Katonda, oli Kabaka wange wa dda; gw’oleeta obulokozi mu nsi. |
|
| 13 |
|
| Ggwe wayawula mu mazzi g’ennyanja; omulabe n’omuzikiririza mu mazzi. |
|
| 14 |
|
| Wamenyaamenya emitwe gya lukwata ogunene; n’oguwaayo okuba ekyokulya eri ebitonde eby’omu ddungu. |
|
| 15 |
|
| Ggwe wazibukula ensulo n’emyala; ate n’okaza n’emigga egyakulukutanga bulijjo. |
|
| 16 |
|
| Obudde bw’emisana bubwo, n’ekiro kikyo; ggwe wakola omwezi n’enjuba. |
|
| 17 |
|
| Ggwe wateekawo ensalo z’ensi; ggwe wakola ebiro eby’ekyeya n’eby’obutiti. |
|
| 18 |
|
| Jjukira ebyo, Ayi Katonda, olabe okuduula kw’omulabe, n’abantu abasirusiru nga bwe banyoomodde erinnya lyo. |
|
| 19 |
|
| Ayi Katonda, towaayo mwoyo gwa jjiba lyo eri ensolo enkambwe; so teweerabiriranga ddala bulamu bw’abantu bo ababonyaabonyezebwa. |
|
| 20 |
|
| Ojjukire endagaano yo; kubanga ensi ejjudde ekizikiza n’abantu abakambwe. |
|
| 21 |
|
| Tokkiriza abo abajoogebwa okuwangulwa; era leka abaavu n’abeetaaga batenderezenga erinnya lyo ennaku zonna. |
|
| 22 |
|
| Yimuka, Ayi Katonda, osalire abalabe baffe omusango. Jjukira abo abatakussaamu kitiibwa, nga bwe bakuduulira obudde okuziba. |
|
| 23 |
|
| Tonyooma luyoogaano lw’abalabe bo, n’okuleekaana okwa buli kiseera. |
|
|
|
|