×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 74

1
Ayi Katonda, lwaki watusuula ennaku zonna? Olisunguwalira endiga ez'omu ddundiro lyo emirembe gyonna?
2
Jjukira abantu be weefunira okuva edda, Be wanunula babe eggwanga eriryo ddala. Jjukira Olusozi Sayuuni kwe wabeeranga.
3
Lambula ebifo ebisigadde nga matongo. Omulabe azikiriza byonna mu kifo ekitukuvu.
4
Abalabe bo balekanira, mu kifo kyo ekitukuvu, Mu kifo kyo ekitukuvu. Basimbye ebendera zaabwe okuba obubonero.
5
Bafaanana ng'abantu abakutte Embazzi okutema emiti mu kibira.
6
Baamenyaamenya ebibajje byonna Babyasa n'embazzi n'ennyondo.
7
Bookezza ekifo kyo ekitukuvu, Ennyumba yo baginyoomye ne bagizikiriza.
8
Boogedde mu mitima gyabwe nti, “Tubazikiririze ddala bonna.” Bookerezza ddala amakuŋŋaaniro gonna aga Katonda mu ggwanga.
9
Tetukyalaba bubonero bwaffe; Tewakyali nnabbi n'omu; So temuli n'omu mu ffe ategeera ebyo lwe birikoma.
10
Ayi Katonda, omulabe alituusa wa okuvuma? Akukyawa alivvoola erinnya lyo emirembe gyonna?
11
Kiki ekikuddiriza omukono, omukono gwo ogwa ddyo? Oguggye mu kifuba kyo obazikirize.
12
Naye Katonda ye Kabaka wange okuva edda lyonna, Aleeta obulokozi wakati mu nsi.
13
Wayawula ennyanja n'amaanyi go: Wamenya emitwe gy'agasolo mu mazzi.
14
Wamenyaamenya emitwe gya Lukwata, Wamuwa okuba emmere y'abo abatuula mu ddungu.
15
Wazibukula ensulo n'emyala n'omukka: Wakaza emigga eminene.
16
Emisana gigyo, era n'ekiro kikyo: Wakola omusana n'enjuba.
17
Wateekawo ensalo zonna ez'ensi: Wakola ekyeya ne ddumbi.
18
Ojjukire kino ng'abalabe bavumye, Ayi Mukama, Era abantu abasirusiru banyooma erinnya lyo.
19
Nkwegayiridde, towaayo emmeeme y'ejjiba lyo eri ensolo: Teweerabira bulamu obw'abaavu bo ennaku zonna.
20
Ojjukire endagaano; Kubanga ebifo eby'enzikiza eby'ensi bijjudde ennyumba ez'ettima.
21
Ajoogebwa alemenga okudda ng'akwatiddwa ensonyi, nkwegayiridde; Abaavu n'abanafu batenderezenga erinnya lyo.
22
Golokoka, Ayi Katonda, weewolereze ensonga yo; Ojjukire omusirusiru bw'azibya obudde okukuvuma.
23
Teweerabira ddoboozi lya balabe bo; Oluyoogaano lw'abo abakugolokokerako lulinnya bulijjo.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes