Luganda Bible
|
| 1 |
| Tukwebaza, ai Katonda; Twebaza kubanga erinnya lyo liri kumpi: Abantu boogera ku bikolwa byo eby'ekitalo. |
| 2 |
| Bwe ndiraba ebiro ebyateekebwawo, Ndisala emisango egy'ensonga. |
| 3 |
| Ensi n'abantu bonna abagituulamu biweddewo: Nze nsimbye empagi zaayo. (Seera) |
| 4 |
| Nagamba ab'ekyejo nti Temugiranga kyejo: N'ababi nti Temuyimusanga jjembe: |
| 5 |
| Temuyimusanga waggulu jjembe lyammwe Temwogeranga n'ensingo enkakanyavu. |
| 6 |
| Kubanga okugulumizibwa tekuva buvanjuba, Newakubadde ebugwanjuba, newakubadde obukiika obwa ddyo. |
| 7 |
| Naye Katonda ye mulamuzi: Atoowaza ono, n'oli amugulumiza. |
| 8 |
| Kubanga mu mukono gwa Mukama ekikompe mwekiri, n'omwenge gwamu guliko ejjovu; Kijjudde ogutabuddwamu, n'akifuka; Mazima ebbonda lyagwo ababi bonna ab'ensi balirikutamira, balirinywa. |
| 9 |
| Naye nze naabuuliranga emirembe gyonna, Naayimbanga okutendereza Katonda wa Yakobo. |
| 10 |
| Era n'amayembe gonna ag'ababi naagazikirizanga; Naye amayembe g'abatuukirivu ganaagulumizibwanga. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/075.mp3
150
75