Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Tukwebaza ayi Katonda, tukwebaza kubanga oli kumpi nga twogera ku by'okola ebyewuunyisa. |
| 2 |
| Waŋŋamba nti: “Mu kiseera kye ndigera, ndisala omusango mu mazima. |
| 3 |
| Ensi bw'eyuuguuma n'ebigirimu byonna, nze ŋŋumya empagi zaayo. |
| 4 |
| Ŋŋamba abeewaana nti: ‘Mulekenga okwewaana.’ N'ababi nti: ‘Mulemenga okwekulumbaza. |
| 5 |
| Mulekere awo okwewanika, n'okwogera nga muduuluka.’ ” |
| 6 |
| Okugulumizibwa tekuva buvanjuba, wadde ebugwanjuba oba wadde mu ddungu. |
| 7 |
| Naye Katonda ye mulamuzi atoowaza omu, n'agulumiza omulala. |
| 8 |
| Mukama akutte mu ngalo ze ekikopo ky'omwenge omuka ogw'obusungu bwe. Alikifuka, ababi bonna ne bakinywa, ne bakimalamu. |
| 9 |
| Naye nze siirekengayo kwogera ku Katonda wa Yakobo, siirekengayo kuyimba okumutendereza. |
| 10 |
| Alizikiriza obuyinza bw'ababi bwonna, naye obw'abalungi bulyeyongera obungi. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/075.mp3
150
75