×

Luganda Bible

Zabbuli 76

1
Mu Yuda Katonda amanyibwa: Erinnya lye kkulu mu Isiraeri.
2
Era mu Salemi eweema ye mweri, N'ekifo kye ky'atuulamu mu Sayuuni.
3
Eyo gye yamenyera obusaale obw'omutego, Engabo, n'ekitala, n'olutalo. (Seera
4
Oli wa kitiibwa, osinga, okuva ku nsozi ez'omunyago.
5
Ab'emitima emizira banyagiddwa, beebase mu tulo twabwe; So mu bantu ab'amaanyi temuli abalabye emikono gyabwe.
6
Ggwe onenyezza, ggwe Katonda wa Yakobo, Eggaali era n'embalaasi n'ebyebasibwa otulo otw'okufa.
7
Ggwe, ggwe ogwanira okutiibwa: Era ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng'omaze okusunguwala?
8
Wawuliza omusango nga guvudde mu ggulu; Ensi n'etya, n'esirika;
9
Katonda bwe yagolokoka okusala omusango, Okulokola abawombeefu bonna abali mu nsi. (Seera)
10
Mazima obusungu bw'abantu bulikutendereza: Obusungu obulisigalawo olibwesiba.
11
Mweyame obweyamo, musasule Mukama Katonda wammwe: Bonna abamwetoolodde baleetere ebirabo oyo agwanira okutiibwa.
12
Alizikiriza omwoyo gw'abalangira: Ye w'entiisa eri bakabaka b'ensi.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes