Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Katonda amanyiddwa mu nsi ya Yuda erinnya lye kkulu mu Yisirayeli. |
| 2 |
| Ekisulo kye kiri mu Yerusaalemu, abeera ku Lusozi Siyooni. |
| 3 |
| Eyo gye yamenyera obusaale bw'omulabe, n'engabo wamu n'ebitala, n'ebyokulwanyisa ebirala. |
| 4 |
| Oli waakitiibwa, ayi Katonda, ng'ova mu nsozi gye wawangulira abalabe bo. |
| 5 |
| Abalwanyi baabwe abazira, byonna bye baalina binyagiddwa, kati beebase obutakyassa. Amaanyi gaabwe n'obuzira tebyabagasa. |
| 6 |
| Bwe wakangisaamu oti, ayi Katonda wa Yakobo, embalaasi n'abazeebagala baagwa eri ne balambaala! |
| 7 |
| Naye ggwe oli wa ntiisa! Aluwa akutambaala ng'omaze okusunguwala? |
| 8 |
| Wamanyisa ensala y'omusango evudde mu ggulu. Ensi n'etya n'esirika, |
| 9 |
| ng'osituse okulaga bw'ogusaze okulokola abanyigirizibwa ku nsi. |
| 10 |
| Ddala obusungu bw'abantu bwongera kukuweesa kitiibwa. Abaliwona entalo balikutendereza nga bajaguza. |
| 11 |
| Mukama Katonda wammwe mumuwe bye mumusuubizza. Bonna abamwetoolodde bamuleetere ebirabo, oyo agwanira okutiibwa. |
| 12 |
| Atoowaza abalangira abakulu, n'atiisa bakabaka mu buli ggwanga. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/psalms/076.mp3
150
76