Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Katonda amanyiddwa mu Yuda; erinnya lye kkulu mu Isirayiri. |
| 2 |
| Eweema ye eri mu Yerusaalemi; era abeera mu Sayuuni. |
| 3 |
| Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza; n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo. |
| 4 |
| Owa ekitangaala, oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa. |
| 5 |
| Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa, beebaka ne batasobola kugolokoka, ne watabaawo n’omu asobola okuyimusa omukono gwe. |
| 6 |
| Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo, abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka. |
| 7 |
| Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga. Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde? |
| 8 |
| Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu, ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo, |
| 9 |
| bw’ogolokoka okusala omusango, okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi. |
| 10 |
| Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa, n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza. |
| 11 |
| Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga; bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo, kubanga asaanidde okutiibwa. |
| 12 |
| Mukama akkakkanya abalangira, ne bakabaka b’ensi bamutya. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/076.mp3
150
76