×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 76

1
Mu Yuda Katonda amanyiddwa, Erinnya lye kkulu mu Isiraeri.
2
mu Salemi eweema ye mweri, N'ekifo kye ky'atuulamu mu Sayuuni.
3
Eyo gye yamenyera obusaale obw'omutego, Engabo, n'ekitala, n'olutalo.
4
Oli wa muwendo, wa kitiibwa nnyo, osinga ensozi ezolubeereera.
5
Ab'emitima emizira banyagiddwa, beebase mu tulo twabwe; bantu bonna abalwanyi, tebasobola kukozesa emikono gyabwe.
6
Bwe wabogolamu, ggwe Katonda wa Yakobo, abeebagala embalaasi n'embalaasi ne birambaala.
7
Naye ggwe, otiibwa! Era ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng'omaze okusunguwala?
8
Wasinzira mu ggulu n'osala omusango; Ensi n'etya, n'esirika,
9
Katonda bwe yagolokoka okusala omusango, Okulokola abanyigirizibwa bonna abali mu nsi.
10
Mazima obusungu bw'abantu bulikutendereza; Obusungu obulisigalawo olibwesiba.
11
Mweyame obweyamo, musasule Mukama Katonda wammwe; Bonna abamwetoolodde bamuleetere ebirabo oyo agwanira okutiibwa.
12
Alizikiriza omwoyo gw'abalangira, Ye w'entiisa eri bakabaka b'ensi.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes