×

Luganda Bible

Zabbuli 77

1
Naakabiranga Katonda n'eddoboozi lyange; Eri Katonda n'eddoboozi lyange, naye anampuliranga.
2
Ku lunaku olw'okunakuwala kwange nanoonya Mukama; Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira; Emmeeme yange n'egaana okusanyusibwa.
3
Njijukira Katonda, ne nneeraliikirira: Neemulugunya, omwoyo gwange ne guzirika. (Seera)
4
Okwata ku maaso gange nga gatunula: Ntegana bwe nti n'okuyinza ne ssiyinza kwogera.
5
Ndowoozezza ennaku ez'edda, Emyaka egy'ebiro eby'edda.
6
Njijukira oluyimba lwange ekiro Ne nteesa ebigambo n'omutima gwange nzekka; N'omwoyo gwange gwanoonyeza ddala.
7
Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna? Era anaaba nga takyalina kisa nate?
8
Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna? Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n'emirembe?
9
Katonda yeerabidde okuba n'ekisa? Asibye okusaasira kwe okulungi mu busungu? (Seera)
10
Nange ne njogera nti Obwo bwe bunafu bwange; Naye najjukiranga emyaka egy'omukono ogwa ddyo gw'oyo ali waggulu ennyo.
11
Naayogeranga ku bikolwa bya Mukama; Kubanga najjukiranga eby'ekitalo byo eby'edda.
12
Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna, Era naafumiitirizanga ebikolwa byo.
13
Ekkubo lyo, ai Katonda, liri mu watukuvu: Katonda omukulu, ali nga Katonda, ye ani?
14
Ggwe Katonda akola eby'amagero: Wamanyisa amaanyi go mu mawanga.
15
Wanunula abantu bo n'omukono gwo, Abaana ba Yakobo ne Yusufu. (Seera)
16
Amazzi gaakulaba, ai Katonda; Amazzi gaakulaba, ne gatya: Era n'obuziba ne bukankana.
17
Ebire ne bitonnya amazzi; Eggulu ne lireeta eddoboozi: Era n'obusaale bwo ne bubuna.
18
Eddoboozi ery'okubwatuka kwo ne liba mu kikuŋŋunta; Okumyansa ne kumulisa ebintu byonna: Ensi n'ekankana n'eyuuguuma.
19
Ekkubo lyo lyali mu nnyanja. N'empenda zo zaali mu mazzi amangi. N'ebigere byo tebyamanyika.
20
Waluŋŋamyanga abantu bo ng'endiga, Mu mukono gwa Musa ne Alooni.
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes