×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 77

1
Nkaaba ne ntemera Katonda omulanga, nkaaba, naye n'ampulira.
2
Nga ndi mu kabi nsaba Mukama, nsitula emikono gyange ekiro kyonna ne gitaddirira, naye ne mbulwa ekikubagizo.
3
Bwe ndowooza ku Katonda ne neeraliikirira. Bwe ndoowolereza, amaanyi ne gakendeera.
4
Taŋŋanya kusumagirako ekiro kyonna, nkoowa nnyo, n'okwogera kulema.
5
Ndowooza ku nnaku eziyise, ku myaka egy'ebiseera eby'edda.
6
Ndowooza mu kiro kyonna, mu mutima ne nneebuuza nti:
7
“Mukama aboolera ddala ennaku zonna? Era taliddayo kutusanyukira?
8
Takyasaasira n'akatono? Ne bye yasuubiza bikomye awo?
9
Katonda eby'okusaasira abyerabidde? Obusungu bumumazeeko ekisa?”
10
Era ne ŋŋamba nti: “Nga zinsanze? Katonda amaanyi ge gakyuseeko!”
11
Nzijukira ebikolwa bya Mukama ebyamagero bye yakolanga edda,
12
ndowoolereza bye yakola byonna, ne mmanya bwe biri ebikulu.
13
Ayi Katonda, by'okola bitukuvu, oli mukulu, ani alikwenkana?
14
Ggwe Katonda akola ebyamagero, walaga amaanyi go mu mawanga.
15
Wanunula abantu bo n'amaanyi, bazzukulu ba Yakobo ne Yosefu.
16
Ayi Katonda, amazzi gaakutya bwe gaakulaba, wakankanya obuziba bw'ennyanja.
17
Ebire byayiwa amazzi, eggulu lyabwatuka, ebimyanso ne bibuna wonna!
18
Eddoboozi ly'okubwatuka kwo, ne liba mu kikuŋŋunta, okumyansa ne kumulisa byonna. Ensi yakankana, yayuuguuma!
19
Watema ekkubo mu nnyanja, n'empenda zo mu mazzi amangi. Naye mw'oyise temwalabika.
20
Wakulembera ababo ng'endiga zo, nga balabirirwa Musa ne Arooni.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes