BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Eri omuyimbisa. Lugenda nga Yedutuni. Lwa Asafu. Zabbuli. |
| 2 |
| Naleekaana ewa Katonda; naleekaana ewa Katonda ampulire. |
| 3 |
| Ku lunaku lw'obuyinike nanoonya Omukama; ekiro emikono gyange nagigolola awatali kuweera, n'omwoyo gwange gwagaana okukubagizibwa. |
| 4 |
| Nga bwe nzijukira Katonda, ne nsinda; bwe ndowoolereza, omwoyo gwange ne guyenjebuka. |
| 5 |
| Amaaso gange nga togaganya kuwujjaalako; ntabanguse omutima, sikyasobola na kwogera. |
| 6 |
| Nalowoolereza ku nnaku ez'edda; najjukira emyaka egyayita. |
| 7 |
| Ekiro nawulira oluyimba mu mutima gwange, neefumiitiriza, omutima gwange ne gwebuuza: |
| 8 |
| “Omukama alitwemansulira ddala butaddirira; taliddayo kutusanyukira? |
| 9 |
| Ekisa kye kikomye emirembe gyonna? Ekisuubizo kye kyafiira ddala amazadde gonna? |
| 10 |
| Abaffe, Katonda yeerabidde okusaasira? Nandiki mu busungu aggalidde ekisa kye?” |
| 11 |
| Awo ne ŋŋamba nti: “Eno ye nnaku yange; Ddyo w'Ali Waggulu Ddala akyuse?” |
| 12 |
| Ndijjukira ebikolwa by'Omukama, Yee! Ndijjukira ebyamagero bye wakola edda luli. |
| 13 |
| Ndyebuulirira ku mirimu gyo gyonna, ne neefumiitiriza ku bikolwa byo eby'amaanyi. |
| 14 |
| Amakubo go, ayi Katonda, matukuvu. Lubaale ani omukulu nga Katonda waffe? |
| 15 |
| Ggwe Katonda akola ebyamagero; walaga amaanyi go mu mawanga. |
| 16 |
| Wanunula abantu bo n'omukono gwo ogw'amaanyi, bazzukulu ba Yakobo ne Yozefu. |
| 17 |
| Amazzi gaakulaba, ayi Katonda, amazzi gaakulaba, ne geenyoola mu bulumi; n'eddubi ne lisiikuuka. |
| 18 |
| Ebire ne bifukumula amazzi, eggulu ne lita okubwatuka, obusaale bwo ne buyitiŋŋana ku njuyi zonna. |
| 19 |
| Eddoboozi ly'okubwatuka kwo lyawulirwa mu mpewo ey'akazimu, ebimyanso byo ne byakaayakanya ensi, ensi n'eyuuguuma, n'ekankana. |
| 20 |
| Ekkubo lyo walikuba mu nnyanja, akakubo ko kaayita mu mazzi amangi, newandibadde ng'ekisinde kyo tekyalabika. |
| 21 |
| Eggwanga lyo walikulemberamu ng'eggana n'omukono gwa Musa ne Aroni. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/psalms/077.mp3
150
77