|
| 1 |
|
| Nnaakaabirira Katonda ambeere, ddala nnaakaabirira Katonda nga musaba ampulire. |
|
| 2 |
|
| Bwe nnali mu nnaku, nanoonya Mukama, ekiro kyonna ne ngolola emikono gyange obutakoowa; emmeeme yange neegaana okusanyusibwa. |
|
| 3 |
|
| Nakujjukiranga, Ayi Katonda ne nsinda, ne nfumiitiriza emmeeme yange n’ezirika. |
|
| 4 |
|
| Tewaŋŋanya kwebaka; natawaanyizibwa nnyo ne sisobola kwogera. |
|
| 5 |
|
| Ne ndowooza ku biseera eby’edda, ne nzijukira emyaka egyayita. |
|
| 6 |
|
| Najjukiranga ennyimba zange ekiro, ne nfumiitiriza nga bwe neebuuza mu mutima gwange nti: |
|
| 7 |
|
| “Mukama anaatusuuliranga ddala ennaku zonna naataddayo kutulaga kisa kye? |
|
| 8 |
|
| Okwagala kwe okutaggwaawo kukomedde ddala? Kye yasuubiza kibulidde ddala emirembe n’emirembe? |
|
| 9 |
|
| Katonda yeerabidde ekisa kye? Asunguwalidde ddala ne yeggyako n’okusaasira kwe?” |
|
| 10 |
|
| Awo ne ndowooza nti, “Ebyo bye mmanyi eby’emyaka emingi eby’omukono ogwa ddyo ogw’oyo Ali Waggulu Ennyo.” |
|
| 11 |
|
| Nnajjukiranga ebikolwa bya Mukama, weewaawo, nnajjukiranga ebyamagero byo eby’edda. |
|
| 12 |
|
| Nnaafumiitirizanga ku bikolwa byo byonna eby’amaanyi; nnaalowoozanga ku byamagero byo byonna. |
|
| 13 |
|
| Ekkubo lyo, Ayi Katonda, liri mu watukuvu. Tewali katonda yenkana Katonda waffe. |
|
| 14 |
|
| Ggwe Katonda akola eby’amagero; era amaanyi go ogalaga mu mawanga. |
|
| 15 |
|
| Wanunula abantu bo n’omukono gwo, abazzukulu ba Yakobo ne Yusufu. |
|
| 16 |
|
| Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda; amazzi bwe gaakulaba ne gatya, n’obuziba ne bukankanira ddala. |
|
| 17 |
|
| Ebire byayiwa amazzi ne bivaamu n’okubwatuka, era n’obusaale bwo ne bubuna. |
|
| 18 |
|
| Eddoboozi lyo ery’okubwatuka lyawulirwa mu kikuŋŋunta okumyansa kwo ne kumulisa ensi. Ensi n’ekankana n’enyeenyezebwa. |
|
| 19 |
|
| Ekkubo lyo lyali mu nnyanja; wayita mu mazzi amangi, naye ebigere mwe walinnya tebyalabika. |
|
| 20 |
|
| Wakulembera abantu bo ng’ekisibo, nga bali mu mikono gya Musa ne Alooni. |
|
|
|
|