×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 77

1
Nnaakabiranga nnyo Katonda, mukabira nnyo, asobole okumpulira,
2
Ku lunaku olw'okunakuwala kwange nanoonya Mukama; Omukono gwange ne gugololebwa ekiro ne gutaddirira; Emmeeme yange n'egaana okusanyusibwa.
3
Njijukira Katonda, ne nneeraliikirira; Nfuumitiriza, omwoyo gwange ne guzirika.
4
Oziyiza maaso gange okuzibirira; Ntegana bwe nti n'okuyinza ne ssiyinza kwogera.
5
Ndowoozezza ennaku ez'edda, Emyaka egy'ebiro eby'edda.
6
Njijukira oluyimba lwange ekiro, Ne nteesa ebigambo n'omutima gwange nzekka; N'omwoyo gwange gwanoonyeza ddala.
7
Mukama anaasuuliranga ddala emirembe gyonna? Era anaaba nga takyalina kisa nate?
8
Okusaasira kwe kugendedde ddala emirembe gyonna? Kye yasuubiza nga kifudde emirembe n'emirembe?
9
Katonda yeerabidde okuba n'ekisa? Asibye okusaasira kwe okulungi mu busungu?
10
Nange ne njogera nti Obwo bwe bunafu bwange; Naye najjukiranga emyaka egy'omukono ogwa ddyo gw'oyo ali waggulu ennyo.
11
Nnaayongeranga ku bikolwa bya Mukama; Kubanga najjukiranga eby'ekitalo byo eby'edda.
12
Era naalowoozanga omulimu gwo gwonna, Era nnaafumiitirizanga ebikolwa byo.
13
Ekkubo lyo, Ayi Katonda, ttukuvu, Katonda ki oyo, asinga Katonda waffe?
14
Ggwe Katonda akola eby'amagero, Wamanyisa amaanyi go mu mawanga.
15
Wanunula abantu bo n'omukono gwo, Abaana ba Yakobo ne Yusufu.
16
Amazzi gaakulaba, Ayi Katonda; Amazzi gaakulaba, ne gatya, Era n'obuziba ne bukankana.
17
Ebire ne bitonnya amazzi; Eggulu ne libwatuka, Era n'obusaale bwo ne bubuna.
18
Eddoboozi ery'okubwatuka kwo ne liba mu kikuŋŋunta; Okumyansa ne kumulisa ebintu byonna, Ensi n'ekankana n'eyuuguuma.
19
Ekkubo lyo lyali mu nnyanja. N'empenda zo zaali mu mazzi amangi. N'ebigere byo tebyamanyika.
20
Waluŋŋamyanga abantu bo ng'endiga, Mu mukono gwa Musa ne Alooni.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes