1
Mmwe bantu bange muwulire bye njigiriza. Mutege amatu njogere.
2
Nja kwogera mu lugero nja kwatula ebikusike eby'edda,
3
bye twamanya, bye twawulira, ebyatubuulirwa bajjajjaffe.
4
Tetulibikisa baana ab'omulembe oguliddirira. Tulibabuulira obuyinza bwa Mukama ne bye yakola ebikulu, awamu n'ebyamagero.
5
Yawa ebiragiro bazzukulu ba Yakobo, mu Yisirayeli amateeka yagassaamu. Kwe kukuutira bajjajjaffe bagayigirize abazzukulu.
6
Gamanyibwe ab'emirembe egiriddirira, nabo bagamanyise be bazaala.
7
Era bwe batyo na bano balyoke beesigenga Katonda, baleme kwerabira bikolwa bya Mukama, naye bakwatenga amateeka ge.
8
Baleme kuba nga bajjajjaabwe abaakakanyala ne bajeema. Abataanywera mu kwesiganga Katonda, era nga si beesigwa gy'ali.
9
Aba Efurayimu nga balina obusaale n'emitego badda emabega ku lunaku lw'olutalo.
10
Endagaano ya Katonda baagimenya, ne bajeemera amateeka ge.
11
Bye yali akoze tebaabijjukira, ne bye yabalaga ebyamagero.
12
Mu maaso ga bajjajjaabwe we yakolera ebyewuunyo, mu nsi y'e Misiri, mu kisenyi ky'e Zowani.
13
Yayawuza mu nnyanja, ne bagiyitamu wakati. Yayimiriza amazzi, ne gafaanana entuumu.
14
Yabakulembera na kire emisana, ate ekiro kyonna na mumuli gwa muliro.
15
Yayasa amayinja mu ddungu, n'abanywesa amazzi agava ebuziba.
16
Olwazi yaluggyamu ensulo z'amazzi, amazzi ne gakulukuta ng'emigga.
17
Naye ne bongera okwonoona, mu ddungu ne bajeemera Atenkanika.
18
Ne bakema Mukama mu bugenderevu, nga bamusaba ebyokulya bye baayagala.
19
Ne boogera obubi ku Katonda: baagamba nti: “Katonda ayinza okuteekateeka emmere mu ddungu?
20
Weewaawo yakuba olwazi ne luvaamu amazzi. Gaayiika ne gafuuka emigga egy'amaanyi. Era ayinza abantu be okubawa ennyama n'emmere kaakati?”
21
Mukama bwe yawulira ebyo, yasunguwala, n'akuma ku ba Yakobo omuliro, ku Bayisirayeli, obusungu bwe ne bunyooka,
22
kubanga Katonda tebaamukkiriza, era tebeesiga nti ye abalokola!
23
Kyokka yagamba ebire mu bbanga, yalagira eggulu lyeggulewo,
24
n'abawa emmere eyalivaamu: n'atonnyesa mannu gye banaalya.
25
Awo abantu ne balya ku mmere ey'abamalayika, gye yabawa ne bakkuta.
26
Embuyaga eva ebuvanjuba yagikunsa, era amaanyi ge ne galeeta eyo eva mu bukiikaddyo.
27
N'abaweereza ennyama eyaze ng'enfuufu: ze nnyonyi ennyingi ng'omusenyu gw'ennyanja.
28
Ne zigwa we basiisidde, okwetooloola ensiisira zaabwe.
29
Awo abantu ne balya ne bakkuta, yabawa kye baali beegomba.
30
Naye baali bakyalya, ng'era bakyalina amaddu,
31
Katonda n'abasunguwalira: n'abattamu abo abasinga okuba ab'amaanyi. Yisirayeli n'afiirwa abavubuka embulakalevu.
32
Newaakubadde ebyo baabiraba, era tebaalekayo kwonoona. Wadde yabalaga ebyamagero, beerema, tebaamukkiriza.
33
Naye kwe kubeerawo ng'enfuufu, era obulamu bwabwe ne babumala mu kutya.
34
Buli lwe yabattangamu abantu, abalamu ne beenenya, ne bamusemberera.
35
Ne bajjukira nti Katonda ye abakuuma, era nti Katonda Atenkanika Ye Mulokozi waabwe.
36
Mu bigambo baamutendanga naye nga bulimba bwereere.
37
Tebaabanga beesigwa gy'ali: endagaano ye tebaagikuumanga.
38
Wabula Katonda ye, yabakwatirwanga kisa, n'abasonyiwa ebisobyo. Era teyabasaanyaawo. Emirundi mingi era ng'obusungu bwe abufuga, ne butabaggweerako bwonna.
39
Yajjukira nti bantu abalifa, era mbuyaga ekunta n'etedda.
40
Emirundi mingi gye baamujeemera mu ddungu, ne bamunyiiriza mu lukoola.
41
Nga bamugeza lutata, ne banyiiza Omutuukirivu wa Yisirayeli.
42
Beerabira obuyinza bwe, n'olunaku lwe yabawonya omulabe,
43
bwe yakola ebyewuunyo bye e Misiri n'ebyamagero mu kisenyi ky'e Zowani.
44
Emigga yagifuula omusaayi, Abamisiri ne babulwa amazzi ge banywa.
45
Yabasindikira ebibinja by'ensowera ezaabaluma, n'ebikere ebyabazikiriza.
46
Bye balimye yabigabira obuwuka, era n'enzige ne zibyeriira.
47
Omuzira gwakuba emizabbibu gyabwe, n'emiti emitiini tegwagitaliza.
48
Ente zaabwe yazitta n'omuzira, endiga ne zikubwa laddu.
49
Yabaleetera okunakuwala, ng'abayiwako obusungu bwe n'ekiruyi, bye yabatumira abazikirize.
50
Teyaziyiza busungu bwe, wadde okusaasira obulamu bwabwe, wabula yabassa kawumpuli.
51
Yatta abaggulanda bonna mu Misiri, abasinga amaanyi mu maka ga Haamu.
52
Olwo n'akulembera abantu be ng'endiga ze, n'abaluŋŋamya ng'eggana lye abayise mu ddungu.
53
N'abakulembera mirembe ne batatya. Naye abalabe baabwe ne bamiribwa ennyanja.
54
N'atuusa abantu be mu nsi ye entukuvu, ku lusozi yennyini lwe yawangula.
55
Abantu be olwajja, ensi n'agigobamu abalimu, n'agiwa ebika bya Yisirayeli, n'ennyumba za bali, n'azigabira abazze.
56
Naye ne bageza Katonda Atenkanika, ne batawulira biragiro bye.
57
Wabula ne badda emabega, ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe, ne beekyusiza mu kiti ng'embazzi.
58
Baamusunguwaza olw'amasabo gaabwe ag'oku nsozi, ne bamunyiiza nnyo olw'ebifaananyi ebyole.
59
Katonda bwe yalaba ebyo n'asunguwala, n'atamwa nnyo abantu ba Yisirayeli.
60
N'ava mu weema ye mu Siilo gye yabeerangamu ng'ali mu bo.
61
Akabonero akategeeza obuyinza bwe, n'akaleka okunyagibwa abalabe.
62
Yasunguwalira abantu be, n'abaleka battibwe n'ekitala.
63
Omuliro ne gutta abavubuka baabwe, bawala baabwe ne babulwa abawasa.
64
Bakabona baabwe battibwa n'ebitala, bannamwandu baabwe tebaakaaba.
65
Olwo nno Mukama n'aba ng'azuukuka mu tulo, era ng'omuzira akyamuddwa omwenge.
66
N'agoba abalabe be ne badda amabega, ne bakwatibwa ensonyi ezitalikoma
67
Kyokka n'aboola bazzukulu ba Yosefu, n'atalonda kika kya Efurayimu.
68
Wabula ekika kya Yuda kye yalonda, n'Olusozi Siyooni lw'ayagala.
69
N'azimbako ekifo kye ekitukuvu, ekiri ng'ensozi obugulumivu. Ne kinywera ggulugulu ng'ensi, gye yanywereza ddala ennaku zonna.
70
N'alonda omuweereza we Dawudi, gwe yaggya mu malundiro gye yali
71
ng'alabirira endiga eziyonsa kati alabirire aba Yakobo, Abayisirayeli abantu ba Mukama.
72
Yabalabirira mu mwoyo omulungi, ng'abafuga n'amagezi.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.