|
| 1 |
|
| Muwulire okuyigiriza kwange mmwe abantu bange, musseeyo omwoyo ku bye njogera. |
|
| 2 |
|
| Ndyogerera mu ngero, njogere ebintu eby’ekyama ebyaliwo edda, |
|
| 3 |
|
| ebintu bye twawulira ne tumanya; ebintu bajjajjaffe bye baatutegeeza. |
|
| 4 |
|
| Tetuubikisenga baana baabwe, naye tunaabuuliranga buli mulembe ogunnaddangawo ebikolwa bya Mukama eby’ekitalo, n’amaanyi ge n’ebyamagero bye yakola. |
|
| 5 |
|
| Yawa Yakobo ebiragiro, n’ateeka amateeka mu Isirayiri; n’alagira bajjajjaffe babiyigirizenga abaana baabwe, |
|
| 6 |
|
| ab’omu mulembe oguliddirira nabo babimanye, n’abaana abalizaalibwa, nabo babiyigirize abaana baabwe, |
|
| 7 |
|
| balyoke beesigenga Katonda, era balemenga okwerabira ebyo byonna Katonda bye yakola; naye bagonderenga ebiragiro bye. |
|
| 8 |
|
| Baleme okuba nga bajjajjaabwe, omulembe ogw’abakakanyavu era abajeemu abatali bawulize, ab’emyoyo egitali myesigwa eri Katonda. |
|
| 9 |
|
| Abaana ba Efulayimu abaalina obusaale obw’okulwanyisa, naye ne badduka mu lutalo, |
|
| 10 |
|
| tebaatuukiriza ndagaano ya Katonda; ne bagaana okugondera amateeka ga Mukama. |
|
| 11 |
|
| Beerabira ebyo bye yakola, n’ebyamagero bye yabalaga. |
|
| 12 |
|
| Yakola ebyamagero mu maaso ga bajjajjaabwe nga bali mu nsi y’e Misiri, mu kitundu kya Zowani. |
|
| 13 |
|
| Ennyanja yajaawulamu, amazzi ne geetuuma ebbali n’ebbali ng’ebisenge. |
|
| 14 |
|
| Emisana yabakulemberanga n’ekire, n’ekiro n’abakulemberanga n’empagi ey’omuliro. |
|
| 15 |
|
| Yayasa enjazi mu ddungu, n’abawa amazzi amangi agaali ng’agava mu buziba bw’ennyanja. |
|
| 16 |
|
| Yaggya ensulo mu lwazi, n’akulukusa amazzi ng’emigga. |
|
| 17 |
|
| Naye bo ne beeyongera bweyongezi okwonoona, ne bajeemera Oyo Ali Waggulu Ennyo nga bali mu ddungu. |
|
| 18 |
|
| Ne bagezesa Katonda mu bugenderevu, nga bamusaba emmere gye baalulunkanira. |
|
| 19 |
|
| Era ne boogera ku Katonda; nga bagamba nti, “Katonda asobola okutuliisiza mu ddungu? |
|
| 20 |
|
| Weewaawo yakuba olwazi, amazzi ne gakulukuta ng’emigga; naye anaatuwa emmere? Anaawa abantu be ennyama?” |
|
| 21 |
|
| Awo Mukama bwe yawulira ebyo n’asunguwala nnyo; omuliro gwe ne gwaka ku Yakobo, n’obusungu bwe ne bubuubuukira ku Isirayiri. |
|
| 22 |
|
| Kubanga tebakkiriza Katonda, era tebeesiga maanyi ge agalokola. |
|
| 23 |
|
| Naye era n’alagira eggulu; n’aggulawo enzigi z’omu ggulu. |
|
| 24 |
|
| N’abaweereza maanu okuva mu ggulu balye. Yabawa emmere eyava mu ggulu. |
|
| 25 |
|
| Abantu ne balya emmere ya bamalayika; Mukama n’abawanga emmere nnyingi eyabamaliranga ddala. |
|
| 26 |
|
| N’akunsa empewo ey’Ebuvanjuba okuva mu ggulu, era n’aweereza empewo okuva obukiika obwaddyo n’amaanyi ge. |
|
| 27 |
|
| Yatonnyesa ennyama okuva mu ggulu ennyingi ennyo ng’enfuufu; n’abaweereza n’obunyonyi enkumu ennyo ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja. |
|
| 28 |
|
| Ebyokulya ebyo n’abisuula wakati mu lusiisira lwabwe; okwetooloola eweema zaabwe. |
|
| 29 |
|
| Awo ne balya ne bakkuta nnyo; kubanga yabawa kye baali bayaayaanira. |
|
| 30 |
|
| Naye bwe baali nga bakyalulunkana, nga n’emmere ekyali mu kamwa kaabwe, |
|
| 31 |
|
| obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n’abattamu abasajja abasinga amaanyi; abavubuka ba Isirayiri ne bazikirizibwa. |
|
| 32 |
|
| Naye newaakubadde ebyo byonna byabatuukako, kyokka beeyongera okwonoona; newaakubadde nga yabakolera ebyamagero, naye tebakkiriza. |
|
| 33 |
|
| Mukama kyeyava asala ku myaka gyabwe, n’abaleetako okuzikirizibwa okw’amangu era okw’entiisa. |
|
| 34 |
|
| Bwe yattanga abamu ku bo, ne balyoka bamunoonya, ne beenenya ne badda gy’ali. |
|
| 35 |
|
| Ne bajjukira nti Katonda lwe Lwazi lwabwe; era nti Katonda Ali Waggulu Ennyo ye Mununuzi waabwe. |
|
| 36 |
|
| Kyokka baamuwaananga n’emimwa gyabwe, nga bwe bamulimba n’ennimi zaabwe, |
|
| 37 |
|
| so tebaali beesigwa mu mitima gyabwe, era nga tebatuukiriza ndagaano ye. |
|
| 38 |
|
| Naye ye n’abakwatirwanga ekisa n’abasonyiwanga, n’atabazikiriza; emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe, n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala. |
|
| 39 |
|
| Yajjukira nga baali mubiri bubiri; ng’empewo egenda n’etedda! |
|
| 40 |
|
| Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu; ne banakuwaza nnyo omutima gwe. |
|
| 41 |
|
| Ne baddamu ne bakema Katonda, ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri. |
|
| 42 |
|
| Tebajjukira buyinza bwe; wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe; |
|
| 43 |
|
| bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri, n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani, |
|
| 44 |
|
| yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi, ne batanywa mazzi gaagyo. |
|
| 45 |
|
| Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma, n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza. |
|
| 46 |
|
| Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige ne bulusejjera. |
|
| 47 |
|
| Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira, era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe. |
|
| 48 |
|
| Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira; n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu. |
|
| 49 |
|
| Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako, n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa. N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza. |
|
| 50 |
|
| Yabalaga obusungu bwe, n’atabasonyiwa kufa, n’abasindikira kawumpuli. |
|
| 51 |
|
| Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri, nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu. |
|
| 52 |
|
| N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga, n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo. |
|
| 53 |
|
| N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya, ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe. |
|
| 54 |
|
| N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu; ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo. |
|
| 55 |
|
| Yagobamu amawanga nga balaba, n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo; n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo. |
|
| 56 |
|
| Naye era ne bakema Katonda; ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo, ne bagaana okugondera ebiragiro bye. |
|
| 57 |
|
| Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali, ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu. |
|
| 58 |
|
| Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu, ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala. |
|
| 59 |
|
| Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri. |
|
| 60 |
|
| N’ava mu weema ey’omu Siiro, eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be. |
|
| 61 |
|
| N’awaayo amaanyi ge mu busibe, n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe. |
|
| 62 |
|
| Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala, n’asunguwalira omugabo gwe. |
|
| 63 |
|
| Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi, ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa. |
|
| 64 |
|
| Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira. |
|
| 65 |
|
| Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo, ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde. |
|
| 66 |
|
| N’akuba abalabe be ne badduka; n’abaswaza emirembe gyonna. |
|
| 67 |
|
| Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu, n’ekika kya Efulayimu n’atakironda; |
|
| 68 |
|
| naye n’alonda ekika kya Yuda, lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala. |
|
| 69 |
|
| N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu; ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna. |
|
| 70 |
|
| Yalonda Dawudi omuweereza we; n’amuggya mu kulunda endiga. |
|
| 71 |
|
| Ave mu kuliisa endiga, naye alundenga Yakobo, be bantu be, era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera. |
|
| 72 |
|
| N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa, n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye. |
|
|
|
|