×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 78

1
Muwulire, mmwe abantu bange, okuyigiriza kwange; Mutege amatu gammwe eri ebigambo eby'akamwa kange.
2
Nnayogerera mu lugero, Naayogera ebigambo eby'ekyama eby'edda,
3
Bye twawuliranga, bye twamanyanga, Era bajjajjaffe bye baatubuuliranga.
4
Tetuubikisenga baana baabwe, Naye tunabuuliranga buli mulembe ogujja, ebikolwa bya Mukama eby'ekitalo, n'amaanyi ge, n'eby'amagero bye bye yakola.
5
Kubanga yanyweza obujulirwa mu Yakobo, Era yalagira etteeka mu Isiraeri, Lye yakuutira bajjajjaffe, Babiyigirizenga abaana baabwe,
6
Emirembe egijja gibimanye, n'abaana abalizaalibwa, nabo babibuulire abaana baabwe,
7
Balyoke basuubirenga Katonda, So balemenga okwerabira emirimu gya Katonda, Naye bakwatenga amateeka ge,
8
So balemenga okuba nga bajjajjaabwe, Omulembe ogw'abakakanyavu, era omujeemu, omulembe ogutalina mutima munywevu, Ogwalina omwoyo ogutali gwa mazima eri Katonda.
9
Abaana ba Efulayimu, nga balina obusaale obw'okulwanyisa, Ne badduka mu lutalo,
10
Tebaakwata ndagaano ya Katonda, Ne bagaana okutambulira mu mateeka ge;
11
Ne beerabira ebikolwa bye, N'eby'amagero bye bye yabalaga.
12
Yakolera eby'ekitalo mu maaso ga bajjajjaabwe, Mu nsi y'e Misiri, mu nnimiro ya Zowaani.
13
Yayasa mu nnyanja, n'abayisa wakati; N'ayimiriza amazzi ng'entuumo.
14
Era emisana yabakulemberanga n'ekire, N'ekiro kyonna n'omumuli ogw'omuliro.
15
Yayasa amayinja mu ddungu, N'abanywesa amazzi amangi nga gava mu buziba.
16
Era yaviisa ensulo mu jjinja, N'akulukusa amazzi ng'emigga.
17
Naye bo ne beeyongera bweyongezi okumwonoona, Okujeemera oyo ali waggulu ennyo mu ddungu.
18
Ne bakema Katonda mu mutima gwabwe. Ne bamusaba emmere gye baalulunkanira.
19
Era naye baayogera obubi ku Katonda; Nga baagamba nti, “Katonda ayinza okutuliisiza mu ddungu?”
20
Weewaawo yakuba olwazi, amazzi ne gatiiriika, Emigga ne gikulukuta; Ayinza okutuwa emmere? Anaawa ennyama abantu be?
21
Mukama kyeyava awulira, n'asunguwala, Omuliro ne gwaka ku Yakobo, Era n'obusungu ne bubuubuuka ku Isiraeri,
22
Kubanga tebakkiriza Katonda, So tebeesiga bulokozi bwe.
23
Naye n'alagira eggulu waggulu, N'aggulawo enzigi ez'omu ggulu;
24
N'abatonnyesezanga maanu okulya, N'abawanga emmere ey'omu ggulu.
25
Abantu ne balyanga emmere ey'abakulu: Yabaweerezanga eby'okulya n'abakkusa.
26
N'akunsa empewo eziva ebuvanjuba mu ggulu; Era n'aluŋŋamya n'obuyinza bwe empewo eziva obukiikaddyo.
27
Era n'abatonnyeseza ennyama ennyingi ng'enfuufu, N'ennyonyi ezibuuka ng'omusenyu ogw'ennyanja.
28
N'abigwisa wakati mu lusiisira lwabwe, Okwetooloola ennyumba zaabwe.
29
Awo ne balya, ne bakkuta nnyo; N'abawa kye baali beegomba.
30
Baali nga tebannayawukana n'okwegomba kwabwe, Emmere yaabwe yali ng'ekyali mu bumwa bwabwe,
31
Obusungu bwa Katonda ne bubabuubuukirako, N'abattamu abasajja abasinga amaanyi, N'azikiriza abavubuka ba Isiraeri.
32
Era naye ebyo byonna bwe byababaako ne beeyongera okwonoona; Newakubadde nga yabakolera eby'amagero, tebakkiriza.
33
Kyeyava afuula ennaku zaabwe obutaliimu, N'emyaka gyabwe okuba egy'entiisa.
34
Bwe yabattangamu, ne balyoka bamunoonya, Ne beenenya ne bakomawo gy'ali.
35
Ne bajjukira nga Katonda lwe lwazi lwabwe, Era nga Katonda ali waggulu ennyo ye yabanunula.
36
Kyokka baamuwaananga n'emimwa gyabwe, Ne bamulimbalimba n'olulimi lwabwe.
37
Kubanga omutima gwabwe tegwalongooka gy'ali, So tebaali beesigwa mu ndagaano ye.
38
Naye ye, kubanga yajjula okusaasira, n'asonyiwa obutali butuukirivu bwabwe, n'atabazikiriza. Weewaawo, emirundi emingi yakomanga ku busungu bwe, N'atabamalirako kiruyi kye.
39
Naye n'ajjukira nga bo mubiri bubiri; ng'empewo egenda n'etedda!
40
Emirundi nga mingi gye baamujeemera mu ddungu, Ne bamunakuwaliza mu lukoola!
41
Ne bamukemanga olutata, Ne banyiiza Omutukuvu wa Isiraeri.
42
Tebajjukira buyinza bwe, Newakubadde olunaku lwe yabanunuliramu eri omulabe.
43
Bwe yateeka obubonero bwe mu Misiri, N'eby'amagero bye mu nnimiro ya Zowaani;
44
N'afuula emigga gyabwe omusaayi, N'enzizi zaabwe ne batayinza kunywa.
45
N'atuma mu bo ebitole by'ensowera, ezaabaluma; N'ebikere, ebyabazikiriza.
46
Era n'awa obuwuka ekyengera kyabwe, N'emirimu gyabwe eri enzige.
47
N'atta emizabbibu gyabwe n'omuzira, N'emisukomooli gyabwe n'empeke ennene ez'omuzira,
48
Yawaayo n'ente zaabwe eri omuzira, N'ebisibo byabwe ne bittibwa laddu.
49
Yabakasukako obusungu bwe obukambwe, N'okunyiiga, n'okunyiikaala, n'okunakuwala, N'ekibiina kya bamalayika okubazikiriza.
50
Yabalaga obusungu bwe, Teyasaasira mmeeme zaabwe okufa, Naye n'awaayo obulamu bwabwe eri olumbe;
51
N'akuba ababereberye bonna abaali mu Misiri, Abaasinga amaanyi mu weema za Kaamu;
52
Naye n'aggyamu abantu be ye ng'endiga, N'abaluŋŋamiza mu ddungu ng'ekisibo.
53
N'abakulembera mu mirembe bw'ati n'okutya ne batatya; Naye ennyanja n'esuulira ddala abalabe baabwe.
54
N'abaleeta ku nsalo ey'awatukuvu we, Ku lusozi luno omukono gwe ogwa ddyo lwe gwagula.
55
Era n'agobamu amawanga mu maaso gaabwe, N'agabawa okuba obusika ng'abagerera, N'atuuza ebika bya Isiraeri mu weema zaago.
56
Naye ne bakema Katonda ali waggulu ennyo ne bamujeemera, Ne batagondera biragiro bye.
57
Naye ne bakyuka ne badda emabega ne bakuusakuusa nga bajjajjaabwe; Ne bakyama ng'omutego ogw'obulimba.
58
Kubanga baamusunguwazanga n'ebifo byabwe eby'oku nsozi, Ne bamukwasanga obuggya n'ebifaananyi byabwe ebyole.
59
Katonda bwe yawulira bw'atyo, n'asunguwala, N'atamwa nnyo Isiraeri,
60
N'afuluka mu weema ey'omu Siiro, Eweema gye yali ateese mu bantu;
61
N'awaayo amaanyi ge mu busibe, N'ekitiibwa kye mu mukono gw'omulabe.
62
Era n'agabula abantu be eri ekitala; N'asunguwalira obusika bwe.
63
Omuliro ne gulya abavubuka baabwe; N'abawala baabwe ne bataba na luyimba lwa kufumbirwa.
64
Bakabona baabwe ne bafa ekitala; Ne bannamwandu baabwe ne batakuba biwoobe.
65
Mukama n'alyoka azuukuka ng'azuukuka mu tulo, Ng'omuzira ayogerera waggulu ng'anywedde omwenge.
66
N'akuba abalabe be ne baddayo emabega, N'abaswaza emirembe gyonna.
67
Era n'agaana eweema ya Yusufu, N'atalonda kika kya Efulayimu;
68
Naye n'alonda ekika kya Yuda, Olusozi Sayuuni lwe yayagala.
69
N'azimba awatukuvu we okufaanana ng'ensozi, Ng'ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70
Era n'alonda Dawudi omuddu we, N'amuggya mu bisibo by'endiga,
71
Mu kugoberera endiga eziyonsa mwe yamuggya, Okulundanga Yakobo, be bantu be, ne Isiraeri bwe busika bwe.
72
Awo n'abalundanga mu butuukirivu obw'omutima gwe; N'abaluŋŋamyanga n'amagezi g'emikono gye.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes