Luganda Bible
|
| 1 |
| Ai Katonda, amawanga gazze mu busika bwo; Boonoonye yeekaalu yo entukuvu; Basudde Yerusaalemi entuumo n'entuumo. |
| 2 |
| Emirambo gy'abaddu bo bagiwaddeyo okuba emmere y'ennyonyi eza waggulu, Emibiri gy'abatukuvu bo eri ensolo z'oku nsi. |
| 3 |
| Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi: Ne wataba muntu wa kubaziika. |
| 4 |
| Tufuuse ekivume eri baliraanwa baffe, Okuduulirwa n'okusekererwa eri abo abatwetoolodde. |
| 5 |
| Ai Mukama, olituusa wa okusunguwala emirembe gyonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng'omuliro? |
| 6 |
| Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo. |
| 7 |
| Kubanga balidde Yakobo, Ne bazisa ekifo kye. |
| 8 |
| Tojjukira gye tuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe: Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga: Kubanga tujeezebwa nnyo. |
| 9 |
| Otuyambe, ai Katonda ow'obulokozi bwaffe, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo: Era otuwonye, onaalize ddala ebibi byaffe, olw'erinnya lyo. |
| 10 |
| Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa? Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika |
| 11 |
| Okusinda kw'omusibe kujje mu maaso go; Ng'obuyinza bwo bwe buli obungi owonye abo abateekerwawo okufa; |
| 12 |
| Era owalane baliraanwa baffe emirundi musanvu mu kifuba kyabwe Ekivume kye baakuvuma ggwe, ai Mukama. |
| 13 |
| Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo Tunaakwebazanga ennaku zonna: Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/079.mp3
150
79