×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 79

1
Ayi Katonda, ab'amawanga amalala balumbye ensi yo, ne boonoona Essinzizo lyo ettukuvu, Yerusaalemu bakirese matongo.
2
Emirambo gy'abaweereza bo bagigabulidde ensega zigirye. Egy'abeesigwa bo, bagiwadde nsolo okugirya.
3
Baayiwa omusaayi gw'abantu bo, ng'abayiwa amazzi, ne wataba wa kubaziika!
4
Tuvumibwa abatwetoolodde, batujerega nga beesekera.
5
Ayi Mukama, olituusa wa? Olisunguwalira ennaku zonna? Obusungu bwo bulibuubuuka ng'omuliro?
6
Sunguwalira abo ab'amawanga agatakumanyi, n'ab'omu bwakabaka obutakusinza.
7
Batta abantu ba Yakobo, ne bazikiriza ekifo kyabwe.
8
Totubonereza lwa bibi bya bajjajjaffe. Yanguwa okutukwatirwa ekisa, kubanga tufeebezebwa nnyo.
9
Tuyambe ayi Katonda, tulokole, olw'ekitiibwa kyo tuwonye, era tusonyiwe ebibi byaffe.
10
Lwaki ab'amawanga amalala banditubuuzizza nti: “Katonda wammwe ali ludda wa?” Tulage bw'obonereza amawanga olw'omusaayi gw'abaweereza bo ogwayiibwa.
11
Wuliriza okusinda kw'abasibe. Mu buyinza bwo obungi owonye ababadde ab'okutta.
12
Ayi Mukama, baliraanwa baffe baddize emirundi musanvu ebivumo bye baatuvuma.
13
Olwo ffe ababo, endiga z'omu kisibo kyo, tunaakwebazanga bulijjo, tukutenderezenga ennaku zonna.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes