Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ayi Katonda omugabo gwo gulumbiddwa amawanga; boonoonye yeekaalu yo entukuvu ne Yerusaalemi kizikiriziddwa, ne kifuuka entuumo. |
| 2 |
| Emirambo gy’abaweereza bo bagifudde mmere ya nnyonyi ez’omu bbanga, n’emibiri gy’abatukuvu bo giweereddwa ensolo ez’omu nsiko. |
| 3 |
| Omusaayi gwabwe ne guyiibwa ng’amazzi okwetooloola Yerusaalemi, so nga abafudde tewali muntu abaziika. |
| 4 |
| Baliraanwa baffe batuyisaamu amaaso, era tufuuse ekisekererwa eri abo abatwetoolodde. |
| 5 |
| Ayi Mukama olitusunguwalira kutuusa ddi, nnaku zonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng’omuliro? |
| 6 |
| Obusungu bwo bubuubuukire ku mawanga agatakumanyi, ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo. |
| 7 |
| Kubanga bazikirizza Yakobo, ne basaanyaawo ensi ye. |
| 8 |
| Totubalira kibi kya bajjajjaffe; tukusaba oyanguwe okutusaasira kubanga tuli mu bwetaavu bungi nnyo. |
| 9 |
| Tuyambe olw’ekitiibwa ky’erinnya lyo, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; otuwonye era otutangiririre olw’ebibi byaffe olw’erinnya lyo. |
| 10 |
| Lwaki abamawanga babuuza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?” Kkiriza okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaweereza bo ogwayiyibwa, kumanyibwe mu mawanga gonna nga naffe tulaba. |
| 11 |
| Wuliriza okusinda kw’omusibe; okozese omukono gwo ogw’amaanyi owonye abo abasaliddwa ogw’okufa. |
| 12 |
| Ayi Mukama, baliraanwa baffe abakuduulira, bawalane emirundi musanvu. |
| 13 |
| Kale nno, ffe abantu bo era endiga ez’omu ddundiro lyo, tulyoke tukutenderezenga emirembe gyonna; buli mulembe gulyoke gukutenderezenga emirembe gyonna. |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/psalms/079.mp3
150
79