×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Zabbuli 79

1
Ayi Katonda, amawanga gazze mu busika bwo; Boonoonye Yeekaalu yo entukuvu; Yerusaalemi bakirese matongo.
2
Emirambo gy'abaddu bo bagiwaddeyo okuba emmere y'ennyonyi eza waggulu, Emibiri gy'abatukuvu bo eri ensolo z'oku nsi.
3
Omusaayi gwabwe bagufuse ng'amazzi okwetooloola Yerusaalemi; Ne wataba muntu wa kubaziika.
4
Tufuuse ekivume eri baliraanwa baffe, Okuduulirwa n'okusekererwa eri abo abatwetoolodde.
5
Ayi Mukama, olituusa wa okusunguwala emirembe gyonna? Obuggya bwo bunaabuubuukanga ng'omuliro?
6
Fuka obusungu bwo ku mawanga agatakumanyi, Ne ku bwakabaka obutakoowoola linnya lyo.
7
Kubanga balidde Yakobo, Ne bazisa ekifo kye.
8
Tojjukira gyetuli obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe; Okusaasira kwo okulungi kwanguwe okutukulemberanga, Kubanga tujeezebwa nnyo.
9
Otuyambe, Ayi Katonda ow'obulokozi bwaffe, olw'ekitiibwa ky'erinnya lyo, Era otuwonye, onaalize ddala ebibi byaffe, olw'erinnya lyo.
10
Ab'amawanga ekiriba kiboogeza kiki nti Katonda waabwe ali ludda wa? Eggwanga ly'omusaayi gw'abaddu bo oguyiika Limanyibwe mu b'amawanga mu maaso gaffe.
11
Okusinda kw'omusibe kujje mu maaso go; Ng'obuyinza bwo bwe buli obungi owonye abo abateekerwawo okufa;
12
Era owalane baliraanwa baffe emirundi musanvu mu kifuba kyabwe Ekivume kye baakuvuma ggwe, Ayi Mukama.
13
Naffe abantu bo era endiga ez'ettale lyo tunaakwebazanga ennaku zonna. Tunaayolesanga ettendo lyo okutuusa emirembe gyonna.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes