Luganda Bible
|
| 1 |
| Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! Ggwe eyateeka ekitiibwa kyo ku ggulu. |
| 2 |
| Mu kamwa k'abawere n'abayonka wanyweza amaanyi, Olw'abalabe bo, Olyoke osirise omulabe n'oyo awalana eggwanga. |
| 3 |
| Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw'engalo zo, Omwezi n'emmunyeenye, bye walagira; |
| 4 |
| Omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira, Oba omwana w'omuntu, ggwe okumujjira? |
| 5 |
| Kubanga wamukola okubulako akatono okuba nga Katonda, Era omussaako engule ey'ekitiibwa n'ettendo. |
| 6 |
| Wamufuza emirimu egy'emikono Wateeka ebintu byonna wansi w'ebigere bye: |
| 7 |
| Endiga zonna n'ente, Era n'ensolo ez'omu nsiko; |
| 8 |
| Ennyonyi eza waggulu, n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, Buli kintu ekiyita mu makubo ag'ennyanja. |
| 9 |
| Ai Mukama, Mukama waffe, Erinnya lyo nga ddungi nnyo mu nsi zonna! |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/psalms/008.mp3
150
8