×

Luganda Bible 2003

Zabbuli 8

1
Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga kkulu nnyo mu nsi yonna! Ettendo lyo lituuka ne ku ggulu.
2
Liyimbibwa abaana abato n'abayonka. Wazimba ekigo okwetaasa abalabe bo n'okwegobako buli akulwanyisa.
3
Bwe ntunuulira eggulu lye wakola, n'omwezi n'emmunyeenye bye wateekawo,
4
ne nneebuuza nti, omuntu ataliiko bw'ali, lwaki omulowoozaako? Era omuntu obuntu, lwaki omulumirwa?
5
Wamukola, n'abulako katono okwenkana ggwe Katonda. Wamutikkira engule eyeekitiibwa n'ettendo.
6
Wamuwa okufuga ebintu byonna bye wakola. Ebintu byonna wabiteeka mu buyinza bwe:
7
endiga zonna n'ente, era n'ebisolo eby'omu ttale,
8
ebinyonyi n'ebyennyanja, n'ebitonde ebirala ebiri mu nnyanja.
9
Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga kkulu nnyo mu nsi zonna!
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes